< Acts 9 >

1 But meanwhile Saul was making violent threats against the disciples of the Lord, wanting to kill them. He went to the high priest
Mu kiseera ekyo Sawulo yali aswakidde ng’ayigganya abayigirizwa ba Mukama waffe ng’abatiisatiisa okwagala okubatta, n’atuukirira Kabona Asinga Obukulu,
2 and asked for letters of authorization to take with him to the synagogues in Damascus, giving him permission to arrest any believers in the Way that he found, men or women, and bring them back to Jerusalem as prisoners.
n’amusaba awandiikire ab’omu makuŋŋaaniro ag’omu Damasiko ebbaluwa, ng’ebasaba bakolagane naye mu kuyigganya abakkiriza bonna abasajja n’abakazi b’alisanga eyo, abasibe mu njegere, alyoke abaleete e Yerusaalemi.
3 As Saul approached Damascus, suddenly he was surrounded by a light that blazed down from heaven.
Awo Sawulo bwe yali atambula ng’anaatera okutuuka e Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ennyo okuva mu ggulu ne kimwakako okumwetooloola.
4 He fell to the ground, and heard a voice saying, “Saul, Saul, why are you persecuting me?”
N’agwa wansi, n’awulira eddoboozi nga limugamba nti, “Sawulo! Sawulo! Onjigganyiza ki?”
5 “Who are you, Lord?” Saul asked. “I am Jesus, the one you're persecuting,” he replied.
Sawulo n’abuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?” Eddoboozi ne limuddamu nti, “Nze Yesu gw’oyigganya!
6 “Get up, go on into the city, and you'll be told what to do.”
Kale yimuka ogende mu kibuga onootegeezebwa ky’osaanidde okukola.”
7 The men who were traveling with Saul stood there speechless. They heard the voice speaking, but they didn't see anyone.
Abasajja abaali ne Sawulo ne bayimirira nga basobeddwa n’ekyokwogera nga kibabuze kubanga baawulira eddoboozi ng’ery’omuntu naye nga tebalaba ayogera.
8 Saul got to his feet, and when he opened his eyes, he couldn't see anything. His companions took him by the hand and led him into Damascus.
Sawulo bwe yayimuka wansi n’agezaako okutunula naye ng’amaaso ge tegalaba. Era baamukwata bukwasi ku mukono okumuyingiza mu Damasiko.
9 For three days he couldn't see, and he didn't eat or drink anything.
N’amalayo ennaku ssatu nga talaba era nga talya mmere wadde okunywa amazzi okumala ebbanga eryo lyonna.
10 A follower of Jesus called Ananias lived in Damascus, and the Lord spoke to him in a vision. “Ananias!” he called. “I'm here, Lord,” Ananias responded.
Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, “Ananiya!” N’addamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.”
11 “Get up, and go to Straight Street,” the Lord told him. “Ask at Judas' house for someone called Saul, from Tarsus. He's praying.
Mukama n’amugamba nti, “Genda ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, onoonye ennyumba y’omuntu omu erinnya lye Yuda, omubuuze Sawulo ow’e Taluso. Ali eyo kaakano ng’asaba, kubanga
12 He's seen in vision a man called Ananias come and place his hands on him so he can regain his sight.”
mmulaze mu kwolesebwa omuntu ayitibwa Ananiya ng’ajja gy’ali era ng’amussaako emikono okumusabira amaaso ge galabe.”
13 “But Lord,” Ananias replied, “I've heard a lot about this man—about all the evil things he did to the believers in Jerusalem.
Ananiya n’agamba nti, “Naye Mukama wange, nga mpulidde ebintu ebitali birungi bingi nnyo omuntu oyo by’akoze abakkiriza abali mu Yerusaalemi.
14 The chief priests have given him the power to arrest everyone here that worships and follows you.”
Era tuwulira nti yafuna n’ebbaluwa okuva eri Kabona Asinga Obukulu, ng’emuwa obuyinza okukwata buli mukkiriza yenna ali mu Damasiko!”
15 But the Lord told him, “Get on your way, because he is the person I have chosen to take my name to foreigners and kings, as well as to Israel.
Naye Mukama n’amugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era n’eri abaana ba Isirayiri.”
16 I will show him what he'll have to suffer for my name's sake.”
Era nnaamulaga nga bw’ateekwa okubonaabona ku lw’erinnya lyange.
17 So Ananias left and went to the house. He placed his hands on Saul. “Brother Saul,” he said, “The Lord Jesus, who appeared to you on the road as you were traveling here, has sent me so you can regain your sight and be filled with the Holy Spirit.”
Bw’atyo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali n’amussaako emikono n’amugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ng’ojja antumye gy’oli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.”
18 Immediately, something like scales fell from his eyes, and his sight was restored. He got up and was baptized.
Amangwago ebintu ebyali ng’amagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo n’asobola okulaba, n’ayimirira n’abatizibwa.
19 He also had something to eat and felt stronger. Saul spent several days with the disciples in Damascus.
N’alya emmere n’afuna amaanyi. N’abeera wamu n’abakkiriza mu Damasiko okumala ennaku eziwerako.
20 He immediately started speaking in the synagogues, saying, “Jesus is the Son of God.”
Amangwago Sawulo n’atandika okubuulira mu makuŋŋaaniro ku Yesu nti Yesu Mwana wa Katonda.
21 All who heard him were amazed, and asked, “Isn't this the man who caused so much trouble in Jerusalem for those who believed in Jesus? Wasn't he coming here to have the believers arrested and taken in chains to the chief priests?”
Bonna abaamuwulira ne beewuunya, ne beebuuza nti, “Si y’ono eyayigganyanga ennyo abagoberezi ba Yesu mu Yerusaalemi? Ate twawulira nga yeesonga eyamuleeta abakwate abatwale eri bakabona abakulu.”
22 Saul grew more and more confident, proving Jesus was the Messiah so convincingly that the Jews who lived in Damascus could not refute him.
Sawulo ne yeeyongera okubuulira n’amaanyi n’asirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko ng’akakasa nti Yesu ye Kristo.
23 Some time later the Jews plotted together to kill him,
Bwe waayitawo ebbanga, abakulembeze b’Abayudaaya ne basala olukwe okumutta.
24 but Saul learned of their intentions. Day and night they waited by the city gates looking for the chance to murder him.
Sawulo n’abaako amubuulira ku lukwe lwabwe nga bwe baali bamuteega ku miryango gy’ekibuga emisana n’ekiro bamutemule.
25 So during the night his followers took him and lowered him down in a basket from an opening in the city wall.
Awo abayigirizwa ne bamufulumya ebweru w’ekibuga mu kiro nga bamuyisa mu bbugwe, nga bamusizza mu kisero.
26 When Saul arrived in Jerusalem, he tried to meet with the disciples, but they were all afraid of him because they were not convinced he was really a disciple.
Bwe yatuuka e Yerusaalemi n’agezaako okwegatta ku bayigirizwa naye bonna nga bamutya, nga tebakkiriza nti mukkiriza.
27 However, Barnabas took him to meet the apostles, and explained to them how Saul had seen the Lord on the road and how the Lord had spoken to Saul. Barnabas also explained how in Damascus Saul had spoken boldly in the name of Jesus.
Naye Balunabba n’amuleeta eri abatume n’abategeeza nga Sawulo bwe yalaba Mukama mu kkubo era n’ayogera nga bwe yabuulira n’obuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yesu.
28 Saul stayed with the apostles and accompanied them all over Jerusalem,
Ne balyoka bamukkiriza n’abeeranga nabo, n’ayitanga nabo era ng’alya nabo mu Yerusaalemi. N’abuuliranga n’obuvumu erinnya lya Mukama waffe.
29 speaking boldly in the name of the Lord. He talked and debated with the Greek-speaking Jews, but they tried to kill him.
Naye ne wabaawo okuwakana n’okukubaganya ebirowoozo wakati we n’Abakerenisiti, ne bagezaako okumutta.
30 When the brothers learned of this they took him to Caesarea, and sent him to Tarsus.
Kyokka abooluganda bwe baawulira nga Sawulo ali mu kabi bwe katyo ne bamutwala e Kayisaliya ne bamuweereza e Taluso.
31 During this time the whole church throughout Judea, Galilee, and Samaria was left in peace. The church grew strong and increased rapidly in numbers as the believers lived reverently for the Lord, encouraged by the Holy Spirit.
Mu kiseera ekyo Ekkanisa n’eba n’emirembe mu Buyudaaya, ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya; ne yeeyongera mu maanyi ne mu muwendo gw’abantu abakkiriza. Ne bayiga okutya Mukama, era Mwoyo Mutukuvu n’abasanyusanga.
32 Peter was traveling around and went to visit the believers who lived in Lydda.
Peetero n’atambulanga mu bifo bingi; era bwe yali ng’atambula n’asanga abakkiriza mu kibuga ekiyitibwa Luda.
33 There he met a man called Aeneas who was paralyzed and had been confined to his bed for eight years.
Eyo yasangayo omuntu erinnya lye Ayineya eyali akoozimbye ng’amaze ku kitanda emyaka munaana nga mulwadde.
34 Peter told him, “Aeneas, Jesus Christ heals you! Get up and pick up your mat!” Immediately Aeneas got up.
Peetero n’amugamba nti, “Ayineya! Yesu Kristo akuwonya. Golokoka weeyalire!” Amangwago n’awonyezebwa.
35 Everyone living in Lydda and Sharon saw him, and became believers in the Lord.
Awo abantu bonna abaabeeranga mu Luda ne mu Saloni ne bakyukira Mukama, bwe baalaba nga Ayineya atambula.
36 In Joppa lived a follower called Tabitha, (Dorcas in Greek). She was always doing good and helping the poor.
Mu kibuga Yopa mwalimu omuyigirizwa ayitibwa Tabbiisa, mu Luyonaani ng’ayitibwa Doluka. Yali mukkiriza, bulijjo eyakoleranga abalala ebyekisa n’okusingira ddala abaavu.
37 However, about this time she became sick, and died. After washing her body, they laid her out in an upstairs room.
Mu kiseera ekyo n’alwala nnyo era n’afa. Ne bateekateeka omulambo gwe ne bagugalamiza mu kisenge ekya waggulu.
38 Lydda was near Joppa, so the disciples in Joppa, hearing that Peter was in Lydda, sent two men to him with the message, “Please come to us right away.”
Naye bwe baawulira nga Peetero ali kumpi awo mu kibuga Luda ne bamutumira abasajja babiri ne bamwegayirira ajje e Yopa.
39 So Peter got ready and left with them. When he arrived they took him upstairs. All the widows were there crying, and they showed him the coats and clothes that Dorcas had made while she was with them.
N’akkiriza. Amangu ddala nga yaakatuuka ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu omulambo gwa Doluka gye gwali gugalamizibbwa. Ekisenge kyali kijjudde bannamwandu abaali bakaaba nga bwe balagaŋŋana ebyambalo Doluka bye yali abakoledde.
40 Peter told them all to leave, kneeled down, and prayed. He turned to the body and said, “Tabitha, get up.” She opened her eyes, and when she saw Peter she sat up.
Peetero n’abasaba bonna bafulume, n’afukamira n’asaba. N’akyukira omulambo n’ayogera nti, “Tabbiisa golokoka.” Tabbiisa n’azibula amaaso, era bwe yalaba Peetero n’atuula.
41 He took her by the hand and lifted her up. He called in the believers and the widows, and presented her to them alive.
Peetero n’amukwata ku mukono amuyambe okuyimuka, n’alyoka ayita abakkiriza ne bannamwandu, n’abamukwasa nga mulamu.
42 The news spread through the whole of Joppa, and many believed in the Lord.
Amawulire ago ne gayitiŋŋana mu kibuga Yopa kyonna era bangi ne bakkiriza Mukama.
43 Peter spent a long time in Joppa, staying at the house of Simon the tanner.
Peetero n’abeera e Yopa okumala ebbanga ddene, ng’asula ewa Simooni omuwazi w’amaliba.

< Acts 9 >