< Acts 8 >

1 Saul approved of his killing. On that very day terrible persecution broke out against the church in Jerusalem, and everyone except for the apostles were scattered throughout Judea and Samaria.
Sawulo yali omu ku abo abaawagira okuttibwa kwa Suteefano. Era ku lunaku olwo okuyigganya Ekkanisa ne kutandika n’amaanyi mangi nnyo mu Yerusaalemi. Abakkiriza bonna, okuggyako abatume, ne basaasaanira mu Buyudaaya ne mu Samaliya.
2 (Some faithful followers of God buried Stephen, with great mourning.)
Abantu ba Katonda ne baggyawo Suteefano ne bamutwala ne bamuziika mu kwaziirana okungi.
3 But Saul set about destroying the church, going from house to house, dragging both men and women off to prison.
Naye Sawulo n’akolerera okuzikiriza Ekkanisa; n’agenda buli wantu ng’akwata abasajja n’abakazi n’abatwala mu kkomera.
4 Those who had been scattered spread the word wherever they went.
Naye abakkiriza abadduka mu Yerusaalemi ne bagenda mu buli kifo nga babuulira Enjiri ya Yesu.
5 Philip went to the town of Samaria, and told them about the Messiah.
Awo Firipo, n’alaga mu kimu ku bibuga bya Samaliya n’abuulira abantu Enjiri ya Kristo.
6 When the crowds heard what Philip was saying and saw the miracles he did they all paid attention to what he was telling them.
Ebibiina ne bimuwuliriza nnyo kubanga abantu bonna baalaba ebyamagero bye yakola.
7 Many were freed from possession by evil spirits that screamed as they came out, and many who were lame or disabled were healed.
Baddayimooni bangi ne bava ku bantu nga bwe baleekaana; abaali bakoozimbye n’abalema bonna ne bawonyezebwa;
8 The people who lived in the city were overjoyed.
ekibuga ne kijjula essanyu.
9 Now there was a man named Simon who lived in the city. He practiced sorcery. He claimed that he was someone very important, and had astounded the people of Samaria
Waaliwo omusajja erinnya lye Simooni eyali omufumu omwatiikirivu mu kibuga omwo era nga yeewuunyisa nnyo abantu bonna mu Samaliya. Yeeyogerangako nti muntu mukulu era wa kitiibwa.
10 so they all paid attention to him. From the lowest to the highest in society they said, “This man is ‘God the Great Power.’”
Era abantu bangi ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa baamwogerangako nti, “Omusajja oyo ge maanyi ga Katonda agayitibwa, ‘Amangi.’”
11 They were impressed by him because he had amazed them with his magic for so long.
Ne bamussangako nnyo omwoyo olw’ebyobufuusa bye yakolanga.
12 But when they believed in what Philip told them about the good news about the kingdom of God and the name of Jesus Christ, they were baptized, both men and women.
Naye bwe bakkiriza obubaka bwa Firipo ng’abuulira ku bwakabaka bwa Katonda n’erinnya lya Yesu Kristo abasajja n’abakazi ne babatizibwa.
13 Simon too believed and was baptized. He accompanied Philip, amazed at the miraculous signs and wonders he saw.
Awo ne Simooni yennyini n’akkiriza era n’abatizibwa, n’agobereranga Firipo buli gye yalaganga; era ebyamagero Firipo bye yakolanga, Simooni n’abyewuunya nnyo.
14 When the apostles back in Jerusalem heard that the people of Samaria had accepted the word of God, they sent Peter and John to visit them.
Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira ng’abantu mu Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana.
15 When they arrived they prayed for the converts in Samaria to receive the Holy Spirit.
Bwe baatuuka ne basabira abakkiriza bano abaggya bafune Mwoyo Mutukuvu,
16 The Holy Spirit hadn't come to any of these converts yet—they had only been baptized in the name of the Lord Jesus.
kubanga yali tannaba kubakkako, kubanga baali babatizibbwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu kyokka.
17 The apostles placed their hands on them, and they received the Holy Spirit.
Awo Peetero ne Yokaana ne bassa emikono gyabwe ku bakkiriza abo, ne bafuna Mwoyo Mutukuvu.
18 When Simon saw that the Holy Spirit was given when the apostles placed their hands on people, he offered them money.
Simooni, Omufumu, bwe yalaba ng’abantu bafunye Mwoyo Mutukuvu olw’abatume okubassaako emikono kyokka, kyeyava atoola ensimbi aziwe abatume bamuguze obuyinza obwo.
19 “Give me this power, too,” he asked them, “so that anyone I place my hands on will receive the Holy Spirit.”
N’abagamba nti, “Mumpe obuyinza obwo, buli gwe nnassangako emikono gyange afune Mwoyo Mutukuvu!”
20 “May your money be destroyed together with you for thinking God's gift is something that can be bought!” Peter replied.
Naye Peetero n’amugamba nti, “Ensimbi zo zizikirire naawe olw’okulowooza nti ekirabo kya Katonda kiyinza okugulibwa obugulibwa n’ensimbi.
21 “You're not part of any of this. None of this work belongs to you, because in God's eyes your attitude is totally wrong.
Mu nsonga eno tolinaamu mugabo kubanga omutima gwo si mulongoofu mu maaso ga Katonda.
22 Repent of your evil ways! Pray to the Lord and ask forgiveness for thinking like this.
Noolwekyo weenenye ekikolwa ekyo ekibi weegayirire Mukama, oboolyawo Katonda ayinza okukusonyiwa ebirowoozo byo ebyo ebibi.
23 I can see that you are full of bitter envy, and chained down by your sin.”
Kubanga ndaba nga mu mutima gwo mujjudde obuggya, era oli muddu wa kibi.”
24 “Please pray for me, that nothing you've said may happen to me!” Simon replied.
Simooni n’abeegayirira nti, “Munsabire eri Mukama ebintu ebyo bye mwogedde bireme okuntuukako.”
25 After they had given their testimony and shared the word of the Lord, they returned to Jerusalem, sharing the good news in many Samaritan villages along the way.
Awo Peetero ne Yokaana bwe baamala okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu, ne basitula okuddayo mu Yerusaalemi, nga bagenda babuulira Enjiri mu bibuga bingi bye baayitangamu mu Samaliya.
26 An angel of the Lord told Philip, “Get ready and go south to the desert road that leads from Jerusalem to Gaza.”
Awo malayika wa Mukama n’agamba Firipo nti, “Kwata ekkubo eriraga mu bukiikaddyo, eriva e Yerusaalemi nga liyita mu ddungu okugenda e Ggaaza.”
27 So Philip set out, and met an Ethiopian man, a eunuch who had a high position in the service of the Kandake, Queen of Ethiopia. He was her chief treasurer. He had gone to Jerusalem to worship there, and
Firipo n’akwata ekkubo eryo. Mu kiseera ekyo waaliwo omusajja Omwesiyopya mu kkubo eryo ng’ava mu kusinza e Yerusaalemi. Yali mulaawe nga mukungu mu lubiri lwa Kandake, kabaka omukazi owa Esiyopya, era ye yali omuwanika we omukulu.
28 was returning from his trip, sitting in his chariot. He was reading out loud from the book of the prophet Isaiah.
Yali atudde mu ggaali lye ng’addayo ewaabwe nga bw’asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya.
29 The Spirit told Philip, “Go over close to the chariot.”
Awo Mwoyo Mutukuvu n’agamba Firipo nti, “Semberera eggaali eryo oligendereko.”
30 So Philip ran over, and heard the man reading from the prophet Isaiah. “Do you understand what you're reading?” Philip asked him.
Firipo n’adduka n’atuuka ku ggaali, n’awulira Omwesiyopya ng’asoma mu kitabo kya nnabbi Isaaya. N’amubuuza nti, “By’osoma obitegeera?”
31 “How can I, unless someone explains it?” the man replied. He invited Philip to get in and sit beside him.
Omwesiyopya n’addamu nti, “Nnaabitegeera ntya nga sirina abinnyinnyonnyola?” N’asaba Firipo ayingire mu ggaali lye batuule bombi.
32 The Scripture passage he was reading was this: “He was led like a sheep to be slaughtered. Like a lamb is silent in front of his shearer, he didn't say a word.
Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti: “Yatwalibwa ng’endiga egenda okuttibwa. Ng’omwana gw’endiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya, naye bw’atyo teyayasamya kamwa ke.
33 He was humiliated and denied justice. No one can speak of his descendants, for his life came to an end.”
Yajoogebwa n’atalamulwa mu bwenkanya. Ani alyogera ku bazzukulu be? Kubanga ekiseera kye eky’obulamu bwe ku nsi kyakoma!”
34 The eunuch asked Philip, “Tell me, who is the prophet talking about? Is it himself, or someone else?”
Omulaawe kwe kubuuza Firipo nti, “Nnyinnyonnyola, munnange, nnabbi gw’ayogerako; yeeyogerako yekka oba ayogera ku mulala?”
35 Philip started explaining, beginning from this Scripture, telling him about Jesus.
Awo Firipo n’atandika n’Ekyawandiikibwa ekyo n’amubuulira Enjiri ya Yesu Kristo.
36 As they continued on, they came to a stretch of water. The eunuch said, “Look, there's water here—why shouldn't I be baptized?”
Bwe baali bagenda ne batuuka awali amazzi, omulaawe n’agamba nti, “Laba amazzi! Kale lwaki sibatizibwa?”
Awo Firipo n’amugamba nti, “Oyinza okubatizibwa, bw’oba ng’okkiriza n’omutima gwo gwonna.” Omulaawe n’addamu nti, “Nzikiriza nga Yesu Kristo Mwana wa Katonda.”
38 He ordered that the chariot be stopped. Philip and the eunuch both went down into the water and Philip baptized him.
Awo n’alagira omugoba w’eggaali lye okuyimirira, ne bakka mu mazzi, Firipo n’amubatiza.
39 When they came out of the water the Spirit of the Lord took Philip away. The eunuch never saw him again, but he continued on his way full of joy. Philip found himself at Azotus.
Bwe baava mu mazzi amangwago Omwoyo wa Mukama n’atwala Firipo, Omulaawe n’ataddayo kumulaba nate, naye n’atambula olugendo lwe ng’ajjudde essanyu.
40 He spread the good news in all the towns along the way until he arrived at Caesarea.
Naye Firipo n’alabikira mu Azoto, n’agenda ng’abuulira Enjiri mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo okutuukira ddala e Kayisaliya.

< Acts 8 >