< Efesliler 3 >

1 Bu nedenledir ki, ben Pavlus siz uluslar uğruna Mesih İsa'nın tutuklusu oldum.
Nze Pawulo, Kristo Yesu yanfuula omusibe we, nsobole okuyamba mmwe Abaamawanga.
2 Tanrı'nın bana bağışladığı lütfu size ulaştırmakla görevlendirildiğimi duymuşsunuzdur.
Mwawulira ekisa kya Katonda kye naweebwa okubayamba.
3 Yukarıda kısaca değindiğim gibi Tanrı, sır olan tasarısını bana vahiy yoluyla bildirdi.
Nga bwe nasooka okubawandiikira mu bimpimpi, Katonda alina okubikkulirwa okw’ekyama kwe yandaga.
4 Bu mektubu okuduğunuzda Mesih sırrını nasıl kavradığımı anlayabilirsiniz.
Bwe munaasoma ebbaluwa eno mujja kusobola okutegeera ebyo bye mmanyi ku kyama kya Kristo.
5 Bu sır önceki kuşaklara açıkça bildirilmemişti. Şimdiyse Mesih'in kutsal elçilerine ve peygamberlerine Ruh aracılığıyla açıklanmış bulunuyor.
Mu biro eby’edda, tewali yali amanyi kyama ekyo okutuusa Omwoyo wa Katonda bw’akibikkulidde abatume be abatukuvu ne bannabbi.
6 Şöyle ki, öteki uluslar da mirasa ortaktır, aynı bedenin üyeleridir ve Müjde aracılığıyla Mesih İsa'da vaade ortaktır.
Kino kye kyama kye njogerako: olw’enjiri ya Kristo, Abaamawanga balisikira wamu ne Isirayiri ekyo Katonda kye yasuubiza, era baliba omubiri gumu, era ne bagabanira wamu ekisuubizo ekyo mu Kristo Yesu.
7 Tanrı'nın etkin gücüyle bana verilen lütuf armağanı uyarınca bu Müjde'yi yaymakla görevlendirildim.
Nafuuka omuweereza w’enjiri eyo olw’ekirabo eky’ekisa kya Katonda kye naweebwa, Katonda ng’akolera mu maanyi ge.
8 Bütün kutsalların en değersiziydim. Yine de Mesih'in akıl ermez zenginliğini uluslara müjdeleme,
Newaakubadde nga nze nsembayo wansi mu batukuvu bonna, naweebwa ekisa ekyo, okubuulira Abaamawanga emikisa egiri mu Kristo egitageraageraganyizika.
9 ve her şeyi yaratan Tanrı'da öncesizlikten beri gizli tutulan sırrın nasıl düzenlendiğini bütün insanlara açıklama ayrıcalığı bana verildi. (aiōn g165)
Katonda eyatonda ebintu byonna yayagala nnyambe buli muntu okutegeera ebyekyama ebyali bikwekeddwa mu Katonda. (aiōn g165)
10 Öyle ki, Tanrı'nın çok yönlü bilgeliği, kilise aracılığıyla göksel yerlerdeki yönetimlere ve hükümranlıklara şimdiki dönemde bildirilsin.
Katonda yakigenderera atyo, ng’ayita mu kkanisa, alyoke yeeyoleke eri amaanyi n’obuyinza ebiri mu nsi ey’omwoyo eya waggulu, ng’abalaga nga bw’alina amagezi amangi ag’ebika eby’enjawulo.
11 Bu, Tanrı'nın başlangıçtan beri tasarladığı ve Rabbimiz Mesih İsa'da yerine getirdiği amaca uygundu. (aiōn g165)
Katonda yakola bw’atyo ng’enteekateeka ye ey’emirembe n’emirembe bw’eri, gye yatuukiriza mu ebyo byonna Kristo Yesu Mukama waffe bye yakola. (aiōn g165)
12 Mesih'te ve Mesih'e olan imanımızla Tanrı'ya cesaret ve güvenle yaklaşabiliriz.
Kristo atuwa obuvumu n’obugumu, tulyoke tusembere mu maaso ga Katonda olw’okukkiriza nga tetutya.
13 Bu nedenle, uğrunuza çektiğim sıkıntılar karşısında yılmamanızı rica ediyorum. Bunlar size yücelik kazandırır.
Kyenva mbeegayirira muleme kuterebuka olw’okubonaabona kwange ku lwammwe, kubanga ekyo kibaleetera kitiibwa.
14 Bunun için, yerde ve gökte her ailenin adını kendisinden aldığı Baba'nın önünde diz çökerim.
Nfukaamirira Kitaffe,
ebika byonna eby’omu ggulu n’eby’oku nsi mwe biggya obulamu.
16 Baba'nın kendi yüceliğinin zenginliği uyarınca Ruhu'yla sizi iç varlığınızda kudretle güçlendirmesini ve Mesih'in iman yoluyla yüreklerinizde yaşamasını dilerim. Öyle ki, Tanrı'nın bütün doluluğuyla dolmanız için, sevgide köklenmiş ve temellenmiş olarak bütün kutsallarla birlikte Mesih'in sevgisinin ne denli geniş ve uzun, yüksek ve derin olduğunu anlamaya, bilgiyi çok aşan bu sevgiyi kavramaya gücünüz yetsin.
Nsaba Katonda oyo akola eby’ekitalo era agulumizibwa, agumyenga era anywezenga omuntu wammwe ow’omunda, olw’Omwoyo we,
Kristo alyoke abeerenga mu mitima gyammwe olw’okukkiriza kwammwe. Mbasabira mubeerenga n’emirandira mu kwagala nga mukunywereddemu,
mulyoke mubeerenga n’amaanyi awamu n’abatukuvu bonna, okusobola okutegeera obugazi, n’obuwanvu, n’obugulumivu n’okukka wansi ebiri mu kwagala kwa Kristo.
Njagala mutegeere okwagala kwa Kristo okusukkiridde okutegeera kwonna, mulyoke musobole okutegeerera ddala Katonda bw’ali.
20 Tanrı, bizde etkin olan kudretiyle, dilediğimiz ya da düşündüğümüz her şeyden çok daha fazlasını yapabilecek güçtedir.
Kaakano nsaba nti oyo akola ebintu byonna okusinga byonna bye tusaba, ne bye tulowooza, ng’amaanyi ge bwe gali agakolera mu ffe,
21 Kilisede ve Mesih İsa'da bütün kuşaklar boyunca sonsuzlara dek O'na yücelik olsun! Amin. (aiōn g165)
agulumizibwenga mu Kkanisa ne mu Kristo Yesu, emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn g165)

< Efesliler 3 >