< От Луки святое благовествование 15 >

1 Бяху же приближающеся к Нему вси мытарие и грешницы, послушати Его.
Awo abasolooza b’omusolo n’abakozi b’ebibi ne bakuŋŋaanira eri Yesu okumuwuliriza.
2 И роптаху фарисее и книжницы, глаголюще, яко Сей грешники приемлет и с ними яст.
Naye Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beemulugunya nga bagamba nti Yesu akolagana n’abantu abalina ebibi, n’okulya n’alya nabo.
3 Рече же к ним притчу сию, глаголя:
Yesu n’alyoka abagerera olugero luno ng’agamba nti,
4 кий человек от вас имый сто овец, и погубль едину от них, не оставит ли девятидесяти и девяти в пустыни и идет вслед погибшия, дондеже обрящет ю?
“Singa omu ku mmwe abadde alina endiga kikumi, naye emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku ttale n’agenda anoonya eri ebuze okutuusa Lw’agiraba?
5 И обрет возлагает на раме свои радуяся:
Bw’agiraba, agisitula ku bibegabega bye n’agitwala eka ng’ajaguza.
6 и пришед в дом, созывает други и соседы, глаголя им: радуйтеся со мною, яко обретох овцу мою погибшую.
Bw’atuuka eka ayita mikwano gye ne baliraanwa be bajje ng’agamba nti, ‘Munsanyukireko kubanga endiga yange eyabadde ebuze, erabise.’
7 Глаголю вам, яко тако радость будет на небеси о единем грешнице кающемся, нежели о девятидесятих и девяти праведник, иже не требуют покаяния.
Mu ngeri y’emu, mbagamba nti mu ggulu eribaayo essanyu lingi nnyo olw’omwonoonyi omu eyeenenyezza okusinga ekyenda mu omwenda abatuukirivu abateetaaga kwenenya.”
8 Или кая жена имущи десять драхм, аще погубит драхму едину, не вжигает ли светилника, и пометет храмину, и ищет прилежно, дондеже обрящет?
“Oba mukazi ki alina ennoso ze kkumi, emu n’emubulako, atakoleeza ttaala n’anoonya mu buli kasonda konna ak’ennyumba, n’ayera n’ebuziizi yenna okutuusa lw’agiraba?
9 И обретши созывает другини и соседы, глаголющи: радуйтеся со мною, яко обретох драхму погибшую.
Bw’agiraba, ayita mikwano gye ne baliraanwa be n’abagamba nti, ‘Munsanyukireko, ennoso yange eyabadde ebuze ngirabye.’
10 Тако, глаголю вам, радость бывает пред Ангелы Божиими о единем грешнице кающемся.
Mbategeeza nti mu ngeri y’emu omukozi w’ebibi omu bwe yeenenya, bamalayika ba Katonda bajjula essanyu.”
11 Рече же: человек некий име два сына:
Awo Yesu n’abagamba nti, “Waaliwo omusajja eyalina batabani be babiri.
12 и рече юнейший ею отцу: отче, даждь ми достойную часть имения. И раздели има имение.
Omuto n’agamba kitaawe nti, ‘Kitange, nkusaba ompe omugabo gwange ku bintu byo ogunsaanidde.’ Kitaawe n’abagabanyiza ebintu byabwe.
13 И не по мнозех днех собрав все мний сын, отиде на страну далече, и ту расточи имение свое, живый блудно.
“Waayitawo ennaku ntono, omwana omuto n’asibako ebintu bye byonna ne yeetambulira, n’agenda mu nsi ey’ewala. Bwe yatuuka eyo n’asaasaanya ebintu bye ne yeemalira mu binyumu.
14 Изжившу же ему все, бысть глад крепок на стране той, и той начат лишатися:
Mu kiseera ekyo we yamalirawo ebintu bye byonna, n’enjala nnyingi we yagwira mu nsi omwo mwe yali, n’asiibanga era n’asulanga enjala.
15 и шед прилепися единому от житель тоя страны: и посла его на села своя пасти свиния:
N’agenda abeere ew’omwami omu ow’omu nsi omwo n’amusaba amuwe omulimu, n’amusindika gye yalundiranga embizzi azirabirirenga.
16 и желаше насытити чрево свое от рожец, яже ядяху свиния: и никтоже даяше ему.
Omulenzi ne yeegombanga okulyanga ebikuta by’embizzi, naye ne watabaawo amuwa kantu konna.
17 В себе же пришед, рече: колико наемником отца моего избывают хлебы, аз же гладом гиблю?
“Naye bwe yeddamu n’agamba nti, ‘Eka ewaffe, abasajja abapakasi aba kitange bafuna emmere nnyingi ne balya ne balemwa, naye nze ndi wano nfiira wano enjala!
18 Востав иду ко отцу моему, и реку ему: отче, согреших на небо и пред тобою,
Nnaagenda eri kitange, mugambe nti, Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go,
19 и уже несмь достоин нарещися сын твой: сотвори мя яко единаго от наемник твоих.
era sikyasaanira na kuyitibwa mwana wo. Nfunira omulimu mbeere ng’abapakasi bo.’
20 И востав иде ко отцу своему. Еще же ему далече сущу, узре его отец его, и мил ему бысть, и тек нападе на выю его, и облобыза его.
Bw’atyo n’asitula n’addayo ewa kitaawe. “Naye bwe yali ng’akyaliko wala n’awaka, kitaawe n’amulengera ng’ajja, n’amusaasira nnyo. Kitaawe ng’ajjudde amaziga n’amusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amunywegera.
21 Рече же ему сын: отче, согреших на небо и пред тобою, и уже несмь достоин нарещися сын твой.
Omwana n’agamba kitaawe nti, ‘Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo.’
22 Рече же отец к рабом своим: изнесите одежду первую и облецыте его, и дадите перстень на руку его и сапоги на нозе:
“Naye kitaawe n’alagira abaddu be nti, ‘Mwanguwe mangu! Muleete ekkanzu esinga obulungi mugimwambaze. Mumunaanike empeta ku ngalo ye, mumwambaze n’engatto!
23 и приведше телец упитанный заколите, и ядше веселимся:
Era mugende mutte ennyana eya ssava. Tufumbe embaga nnene tujaguze.
24 яко сын мой сей мертв бе, и оживе: и изгибл бе, и обретеся. И начаша веселитися.
Kubanga mutabani wange ono yali afudde kaakano mulamu, yali azaaye laba wuuno azaawuse.’ Embaga n’etandika.
25 Бе же сын его старей на селе: и яко грядый приближися к дому, слыша пение и лики:
“Mu kiseera ekyo omwana omukulu yali ali mu nnimiro. Awo bwe yali akomawo eka ng’asemberedde ennyumba, n’awulira ennyimba ez’amazina.
26 и призвав единаго от отрок, вопрошаше: что (убо) сия суть?
N’ayita omu ku baweereza n’amubuuza bwe bibadde.
27 Он же рече ему, яко брат твой прииде: и закла отец твой телца упитанна, яко здрава его прият.
Omuweereza n’amutegeeza nti, ‘Muganda wo akomyewo, era kitammwe amuttidde ennyana eya ssava olwokubanga muganda wo akomyewo nga mulamu bulungi.’
28 Разгневася же, и не хотяше внити. Отец же его изшед моляше его.
“Muganda we omukulu n’anyiiga, n’okuyingira n’atayingira mu nnyumba. Naye kitaawe n’ajja n’amwegayirira ayingire,
29 Он же отвещав рече отцу: се, толико лет работаю тебе и николиже заповеди твоя преступих, и мне николиже дал еси козляте, да со други своими возвеселился бых:
naye omwana n’amuddamu nti, ‘Emyaka gino gyonna nkukoledde, era tewali mulundi na gumu Lwe wali ondagidde ne nkujeemera. Naye tompangayo wadde akabuzi akato neesanyuseeko ne mikwano gyange.
30 егда же сын твой сей, изядый твое имение с любодейцами, прииде, заклал еси ему телца питомаго.
Naye kale mutabani wo olukomyewo ng’ebintu byo bye wamuwa amaze okubimalira mu bamalaaya, n’omuttira ennyana ensava.’
31 Он же рече ему: чадо, ты всегда со мною еси, и вся моя твоя суть:
“Kitaawe n’amuddamu nti, ‘Laba mwana wange, tuli ffenna bulijjo, era byonna bye nnina bibyo.
32 возвеселитижеся и возрадовати подобаше, яко брат твой сей мертв бе, и оживе: и изгибл бе, и обретеся.
Kaakano kituufu okusanyuka n’okujaguza. Kubanga muganda wo, yali afudde, kaakano mulamu! Yali azaaye, wuuno azaawuse!’”

< От Луки святое благовествование 15 >