< Zekkaliya 10 >

1 Musabe Mukama enkuba mu biseera byayo; kubanga Mukama y’akola ebire enkuba n’etonnya, olwo buli muntu n’afuna ebirime. 2 Kubanga bakatonda abalala n’abalaguzi balaba okwolesebwa okw’obulimba; ne baloota ebirooto eby’obulimba, ne bagumya abantu eby’obulimba. Abantu kyebava bazuŋŋana ng’endiga, nga banyigirizibwa olw’obutaba na musumba. 3 “Obusungu bwange bubuubuukidde ku basumba era nzija kubonereza abakulembeze ba Yuda, kubanga Mukama ow’Eggye ajja kulabirira endiga ze, ennyumba ya Yuda, era alibafuula ng’embalaasi ye emwenyumiririzaamu ennyo mu lutalo. 4 Mu Yuda mulivaamu ejjinja ery’oku nsonda, muveemu n’enkondo enyweza weema, muveemu n’omutego ogw’akasaale era muveemu na buli mufuzi yenna. 5 Bonna awamu balyoke babe ng’abasajja abazira ennyo mu lutalo abatambulira mu bitoomi by’omu nguudo mu biseera eby’entalo. Kubanga Mukama ali nabo, balirwana ne bawangula eggye eryebagadde embalaasi. 6 “Ndiwa ennyumba ya Yuda amaanyi era ndiwonya ennyumba ya Yusufu, ndibakomyawo kubanga mbakwatiddwa ekisa. Balibeera nga be sseegaanangako era ndibawulira kubanga nze Mukama Katonda waabwe. 7 Olwo aba Efulayimu baliba ng’abasajja ab’amaanyi, emitima gyabwe ne gisanyuka nnyo ng’abanywedde wayini. Abaana baabwe balikiraba ne basanyuka, omutima gwabwe gulisanyukira mu Mukama. 8 Ddala ndibawonya ne mbakuŋŋaanya. Ddala ndibanunula, baddeyo babeere bangi nga bwe baabanga. 9 Newaakubadde nga nabasaasaanyiza mu mawanga, naye balisinzira eyo mu nsi ezeewala ne banzijukira. Bo n’abaana baabwe baliba balamu era ne bakomawo gye ndi. 10 Ndibakomyawo okuva mu Misiri, mbakuŋŋaanye okuva mu Bwasuli. Ndibaleeta mu Gireyaadi ne Lebanooni ne bajjula ensi ezo ne watasigalawo kabanga ka kubeeramu. 11 Baliyita mu nnyanja ey’okubonaabona; ennyanja ewuluguma erikkakkanyizibwa, n’obuziba bwa Kiyira bwonna bulikala. Amalala ga Bwasuli galibaggwaamu n’omugo ogw’obufuzi bwa Misiri gulimenyebwa. 12 Ndibafuula ba maanyi mu Mukama era nabo balitambulira mu linnya lyange,” bw’ayogera Mukama.

< Zekkaliya 10 >