< Zabbuli 96 >

1 Muyimbire Mukama oluyimba oluggya; muyimbire Mukama mmwe ensi yonna. 2 Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye, mulangirire obulokozi bwe buli lukya. 3 Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna, eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna. 4 Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa; asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna. 5 Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi; naye Mukama ye yakola eggulu. 6 Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola; amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu. 7 Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna; mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge. 8 Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze. 9 Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe. Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana. 10 Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga. Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako; Mukama aliramula abantu mu bwenkanya. 11 Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze; ennyanja eyire ne byonna ebigirimu. 12 Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze; n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu. 13 Kubanga Mukama ajja; ajja okusalira ensi omusango. Mukama aliramula ensi mu butuukirivu, n’abantu bonna abalamule mu mazima.

< Zabbuli 96 >