< Zabbuli 95 >

1 Mujje tuyimbire Mukama; tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe. 2 Tujje mu maaso ge n’okwebaza; tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza. 3 Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu; era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna. 4 Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe; n’entikko z’ensozi nazo zize. 5 Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola; n’emikono gye, gye gyabumba olukalu. 6 Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge; tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe. 7 Kubanga ye Katonda waffe, naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye, era tuli ndiga ze z’alabirira. Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye, 8 “Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba, ne ku lunaku luli e Maasa mu ddungu; 9 bajjajjammwe gye bangezesa; newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola. 10 Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana; ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe, era tebamanyi makubo gange.’ 11 Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’”

< Zabbuli 95 >