< Zabbuli 87 >

1 Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba. Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu. 2 Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni okusinga ennyumba zonna eza Yakobo. 3 Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako, ggwe ekibuga kya Katonda. 4 “Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu, ne Babulooni; era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’” 5 Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti, “Ono n’oli baazaalirwa omwo,” n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza. 6 Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati, omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.” 7 Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti, “Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”

< Zabbuli 87 >