< Zabbuli 8 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna! Ekitiibwa kyo kitenderezebwa okutuuka waggulu mu ggulu. 2 Abaana abato n’abawere wabawa amaanyi okukutendereza; ne basirisa omulabe wo n’oyo ayagala okwesasuza. 3 Bwe ntunuulira eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo, omwezi n’emmunyeenye bye watonda; 4 omuntu kye ki ggwe okumujjukira, omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo? 5 Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda; n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa. 6 Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo: byonna wabissa wansi w’ebigere bye, 7 ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko, 8 n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ebyennyanja eby’omu nnyanja; era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja. 9 Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!

< Zabbuli 8 >