< Zabbuli 76 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu. Katonda amanyiddwa mu Yuda; erinnya lye kkulu mu Isirayiri. 2 Eweema ye eri mu Yerusaalemi; era abeera mu Sayuuni. 3 Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza; n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo. 4 Owa ekitangaala, oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa. 5 Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa, beebaka ne batasobola kugolokoka, ne watabaawo n’omu asobola okuyimusa omukono gwe. 6 Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo, abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka. 7 Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga. Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde? 8 Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu, ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo, 9 bw’ogolokoka okusala omusango, okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi. 10 Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa, n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza. 11 Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga; bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo, kubanga asaanidde okutiibwa. 12 Mukama akkakkanya abalangira, ne bakabaka b’ensi bamutya.

< Zabbuli 76 >