< Zabbuli 70 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza. Ayi Katonda oyanguwa okundokole. Ayi Mukama oyanguwe okumbeera. 2 Abo abannoonya okunzita batabulwetabulwe; abo abannoonya okunzikiriza, bagobebwe nga baswadde. 3 Abagamba nti, “Kasonso,” badduke nga bajjudde ensonyi. 4 Naye bonna abakunoonya basanyukenga bajagulizenga mu ggwe. Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti, “Katonda agulumizibwenga!” 5 Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga; oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda. Ggwe onnyamba era ggwe ondokola, Ayi Mukama, tolwa!

< Zabbuli 70 >