< Zabbuli 7 >

1 Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama ng’efa ku Kuusi Omubenyamini. Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe: ngobaako bonna abangigganya era omponye, 2 si kulwa nga bantagulataagula ng’empologoma ne bankutulakutula obufiififi ne watabaawo amponya. 3 Ayi Mukama, Katonda wange, obanga nkoze kino, era ng’engalo zange ziriko omusango, 4 obanga waliwo andaze ebirungi nze ne si muyisa bulungi, oba nzibye omulabe wange awatali nsonga: 5 Kale, abalabe bange baleke bangoberere bankwate, bankube wansi banninnyirire, banzitire mu nfuufu. 6 Golokoka, Ayi Mukama, mu busungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe. Golokoka, Ayi Katonda wange, onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya. 7 Kuŋŋaanya bannaggwanga bonna okukwetooloola; obafuge ng’oli waggulu ennyo. 8 Ggwe, Ayi Mukama, Ali Waggulu Ennyo, asalira amawanga gonna emisango, osale omusango gwange Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo ng’obutuukirivu bwange bwe buli, era n’amazima agali mu nze bwe gali. 9 Ayi Katonda omutukuvu, akebera emitima n’emmeeme; okomye ebikolwa by’abakola ebibi: era onyweze abatuukirivu. 10 Katonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange; alokola abo abalina omutima omulongoofu. 11 Katonda mulamuzi wa mazima; era alaga ekiruyi kye buli lunaku. 12 Mukama awagala ekitala kye n’aleega omutego gwe ogw’obusaale. 13 Era ategese ebyokulwanyisa ebissi; era akozesa obusaale obw’omuliro. 14 Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana, n’azaala obulimba. 15 Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo; ate n’akigwamu ye kye yasimye. 16 Emitawaana gye gimwebunguludde; n’obukambwe bwe bumuddire. 17 Nneebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe; nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.

< Zabbuli 7 >