< Zabbuli 67 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba. Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa, era otwakize amaaso go. 2 Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi, n’obulokozi bwo mu mawanga gonna. 3 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga. 4 Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu. Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya, n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi. 5 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga. 6 Ensi erireeta amakungula gaayo; era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa. 7 Katonda anaatuwanga omukisa; n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.

< Zabbuli 67 >