< Zabbuli 63 >

1 Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda. Ayi Katonda, oli Katonda wange, nkunoonya n’omutima gwange gwonna; emmeeme yange ekwetaaga, omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira, nga nnina ennyonta ng’ali mu nsi enkalu omutali mazzi. 2 Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu, ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo. 3 Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu; akamwa kange kanaakutenderezanga. 4 Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna; nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo. 5 Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga; nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu. 6 Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange, era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro. 7 Olw’okuba ng’oli mubeezi wange, nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo. 8 Emmeeme yange yeekwata ku ggwe; omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira. 9 Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa, baliserengeta emagombe. 10 Balisaanawo n’ekitala; ne bafuuka emmere y’ebibe. 11 Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda; bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda, naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.

< Zabbuli 63 >