< Zabbuli 54 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.” Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda, n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango. 2 Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda, owulirize ebigambo by’omu kamwa kange. 3 Abantu be simanyi bannumba; abantu abalina ettima abatatya Katonda; bannoonya okunzita. 4 Laba, Katonda ye mubeezi wange, Mukama ye mukuumi wange. 5 Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize, obazikirize olw’obwesigwa bwo. 6 Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire; ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama, kubanga ddungi. 7 Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna; era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.

< Zabbuli 54 >