< Zabbuli 47 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola. Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna; muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu; 2 Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa. Ye Kabaka afuga ensi yonna. 3 Yatujeemululira abantu, n’atujeemululira amawanga ne tugafuga. 4 Yatulondera omugabo gwaffe, Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza. 5 Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi. Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira. 6 Mutendereze Katonda, mumutendereze. Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze. 7 Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna, mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo. 8 Katonda afuga amawanga gonna; afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu. 9 Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu; kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi. Katonda agulumizibwenga nnyo.

< Zabbuli 47 >