< Zabbuli 42 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola. Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi, n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda. 2 Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu. Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda? 3 Nkaabirira Mukama emisana n’ekiro. Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro, abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?” 4 Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene, ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu, nga tugenda mu nnyumba ya Katonda, nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka n’okwebaza mu kibiina ekijaguza. 5 Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse mu nda yange? Essuubi lyo liteeke mu Katonda, kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange; ye mubeezi wange. 6 Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise, yeeraliikiridde; naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni ne ku Lusozi Mizali. 7 Obuziba bukoowoola obuziba, olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro amayengo n’amasingisira go bimpiseeko. 8 Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro ne muyimbira oluyimba lwe; y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange. 9 Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti, “Lwaki onneerabidde? Lwaki ŋŋenda nkungubaga olw’okujoogebwa abalabe bange?” 10 Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange bancocca, nga bwe bagamba buli kiseera nti, “Katonda wo ali ludda wa?” 11 Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse mu nda yange? Weesigenga Katonda, kubanga nnaamutenderezanga, Omulokozi wange era ye Katonda wange.

< Zabbuli 42 >