< Zabbuli 4 >

1 Ya mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi. Bwe nkukoowoola onnyanukule, Ayi Katonda wange omutuukirivu. Bwe mba mu nnaku, onnyambe. Onkwatirwe ekisa owulire okusaba kwange. 2 Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange? Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, n’okunoonya eby’obulimba? 3 Naye mutegeere nga Mukama yeerondeddemu abo abamugondera. Bwe nnaamukoowoolanga anampuliranga era anannyanukulanga. 4 Ne bwe munyiiga ennyo, temusaana kwonoona; musiriikirire, mwekebere era mufumiitirize mu mitima gyammwe nga mugalamidde ku bitanda byammwe. 5 Muweeyo ebiweebwayo ebisaanidde; era mwesigenga Mukama. 6 Waliwo bangi abasaba nti, “Oyongere okutulaga ebirungi, Ayi Mukama, otumulisize omusana gw’amaaso go.” 7 Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi. 8 Nnaagalamira ne nneebaka mirembe; kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama, ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.

< Zabbuli 4 >