< Zabbuli 3 >

1 Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu. Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi! Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi! 2 Bangi abanjogerako nti, “Katonda tagenda kumununula.” 3 Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma; ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi. 4 Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu. 5 Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi, kubanga Mukama ye ampanirira. 6 Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange abanneetoolodde, okunnumba. 7 Golokoka, Ayi Mukama, ondokole Ayi Katonda wange okube abalabe bange bonna omenye oluba lw’abakola ebibi. 8 Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama. Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.

< Zabbuli 3 >