< Zabbuli 20 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu. Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga. 2 Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu; akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni. 3 Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa, era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa. 4 Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga, era atuukirizenga by’oteekateeka byonna. 5 Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo, ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe. Mukama akuwenga byonna by’omusaba. 6 Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta, amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo, ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu. 7 Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi, naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe. 8 Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo, naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu. 9 Ayi Mukama, lokola kabaka, otwanukule bwe tukukoowoola.

< Zabbuli 20 >