< Zabbuli 150 >

1 Mutendereze Mukama! Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu; mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi. 2 Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge; mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde. 3 Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere, mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere. 4 Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina; mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere! 5 Mumutendereze nga mukuba ebitaasa; mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo! 6 Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama! Mutendereze Mukama.

< Zabbuli 150 >