< Zabbuli 146 >

1 Tendereza Mukama! Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange! 2 Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange; nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu. 3 Teweesiganga bafuzi, wadde abantu obuntu omutali buyambi. 4 Kubanga bafa ne bakka emagombe; ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa. 5 Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo; ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we, 6 eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebirimu, era omwesigwa emirembe gyonna. 7 Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya, n’abalumwa enjala abawa ebyokulya. Mukama asumulula abasibe. 8 Mukama azibula amaaso ga bamuzibe, era awanirira abazitoowereddwa. Mukama ayagala abatuukirivu. 9 Mukama alabirira bannamawanga, era ayamba bamulekwa ne bannamwandu; naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya. 10 Mukama anaafuganga emirembe gyonna, Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe. Mutendereze Mukama!

< Zabbuli 146 >