< Zabbuli 141 >

1 Zabbuli Ya Dawudi. Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi! Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola. 2 Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go, n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi. 3 Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange, era bwe njogera onkomeko. 4 Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi, n’okwemalira mu bikolwa ebibi; nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu, wadde okulya ku mmere yaabwe. 5 Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa; muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange; sijja kugagaana. Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe. 6 Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango, olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima. 7 Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike, n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.” (Sheol h7585) 8 Naye nze amaaso ngatadde ku ggwe, Ayi Mukama Katonda; mu ggwe mwe neekwese, tondeka nga sirina anambeera! 9 Nkuuma omponye omutego gwe banteze, n’ebitimba by’abo abakola ebitali bya butuukirivu. 10 Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babigwemu, kyokka nze mpone.

< Zabbuli 141 >