< Zabbuli 137 >

1 Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni, ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni. 2 Ne tuwanika ennanga zaffe ku miti egyali awo. 3 Abaatunyaga ne batulagira okuyimba, abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka; nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.” 4 Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama mu nsi eteri yaffe? 5 Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi, omukono gwange ogwa ddyo gukale! 6 Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange singa nkwerabira, ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako okusinga ebintu ebirala byonna. 7 Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola, ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa; ne baleekaana nti, “Kisuule, kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.” 8 Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa, yeesiimye oyo alikusasula ebyo nga naawe bye watukola. 9 Yeesiimye oyo aliddira abaana bo n’ababetentera ku lwazi.

< Zabbuli 137 >