< Zabbuli 133 >

1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa, abooluganda okubeera awamu nga batabaganye. 2 Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni ne gakulukutira mu kirevu; gakulukutira mu kirevu kya Alooni, ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye. 3 Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni, ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni; kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa n’obulamu emirembe gyonna.

< Zabbuli 133 >