< Zabbuli 131 >

1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. Ayi Mukama siri wa malala, so n’amaaso gange tegeegulumiza. Siruubirira bintu binsukiridde newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga. 2 Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere. Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo. 3 Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

< Zabbuli 131 >