< Zabbuli 130 >

1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo. 2 Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange; otege amatu go eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange. 3 Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe, ani eyandiyimiridde mu maaso go? 4 Naye osonyiwa; noolwekyo ossibwamu ekitiibwa. 5 Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira era essuubi lyange liri mu kigambo kye. 6 Emmeeme yange erindirira Mukama; mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya; okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya. 7 Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama, kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo; era y’alina okununula okutuukiridde. 8 Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya mu byonoono bye byonna.

< Zabbuli 130 >