< Zabbuli 13 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna? Olikomya ddi okunkweka amaaso go? 2 Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi, n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi? Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza? 3 Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange; onzizeemu amaanyi nneme okufa. 4 Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;” abalabe bange ne bajaguza nga ngudde. 5 Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka; era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo. 6 Nnaayimbiranga Mukama, kubanga ankoledde ebirungi.

< Zabbuli 13 >