< Zabbuli 129 >

1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Isirayiri ayogere nti, “Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.” 2 Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange; naye tebampangudde. 3 Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima, 4 kyokka Mukama mutuukirivu; amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi. 5 Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe era bazzibweyo emabega nga baswadde. 6 Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba, oguwotoka nga tegunnakula. 7 Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma. 8 Wadde abayitawo baleme kwogera nti, “Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe. Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”

< Zabbuli 129 >