< Zabbuli 125 >

1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuni olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna. 2 Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi, ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be, okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna. 3 Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira mu nsi y’abatuukirivu, baleme okuwaliriza abatuukirivu okukola ebibi. 4 Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofu bakolere ebirungi. 5 Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu, Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu. Emirembe gibe ku Isirayiri.

< Zabbuli 125 >