< Zabbuli 122 >

1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. Nasanyuka bwe baŋŋamba nti, “Tugende mu nnyumba ya Mukama!” 2 Ebigere byaffe biyimiridde mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi. 3 Yerusaalemi yazimbibwa okuba ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu. 4 Eyo ebika byonna gye biraga, ebika bya Mukama, okutendereza erinnya lya Mukama ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri. 5 Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa; z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi. 6 Musabirenga Yerusaalemi emirembe: “Abo abakwagala bafune ebirungi. 7 Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo; n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.” 8 Olwa baganda bange ne mikwano gyange nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.” 9 Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.

< Zabbuli 122 >