< Zabbuli 121 >

1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Nnyimusa amaaso gange eri ensozi, okubeerwa kwange kuva wa? 2 Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, eyakola eggulu n’ensi. 3 Taliganya kigere kyo kusagaasagana; oyo akukuuma taabongootenga. 4 Laba, oyo akuuma Isirayiri taabongootenga so teyeebakenga. 5 Mukama ye mukuumi wo; Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo; 6 emisana enjuba teekwokyenga, wadde omwezi ekiro. 7 Mukama anaakukuumanga mu buli kabi; anaalabiriranga obulamu bwo. 8 Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda, okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

< Zabbuli 121 >