< Zabbuli 117 >

1 Mutendereze Mukama, mmwe ensi zonna; mumugulumize, mmwe amawanga gonna. 2 Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli; n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera. Mutendereze Mukama.

< Zabbuli 117 >