< Zabbuli 11 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Mu Mukama mwe neekweka; ate muyinza mutya okuŋŋamba nti, “Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi? 2 Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe egy’obusaale, balase abalina omutima omulongoofu. 3 Emisingi nga gizikirizibwa, omutuukirivu ayinza kukola ki?” 4 Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu; Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu. Amaaso ge gatunuulira era geetegereza abaana b’abantu. 5 Mukama akebera abatuukirivu naye omutima gwe gukyawa ababi, n’abakola eby’obukambwe. 6 Ababi alibayiwako amanda ag’omuliro; n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe. 7 Kubanga Mukama mutuukirivu era ayagala eby’obutuukirivu; abo abalongoofu be balimulaba.

< Zabbuli 11 >