< Okubala 1 >

1 Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde abaana ba Isirayiri bava mu nsi y’e Misiri. N’amugamba nti:
וידבר יהוה אל משה במדבר סיני באהל מועד באחד לחדש השני בשנה השנית לצאתם מארץ מצרים--לאמר
2 “Bala ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ng’obategeka mu bika byabwe, ne mu mpya zaabwe, ng’owandiika erinnya lya buli musajja kinnoomu ku lukalala.
שאו את ראש כל עדת בני ישראל למשפחתם לבית אבתם--במספר שמות כל זכר לגלגלתם
3 Ggwe ne Alooni mujja kutegeka abasajja bonna ab’omu Isirayiri abawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, abatuuse okuyingira mu magye, mubabalire mu bibinja byabwe.
מבן עשרים שנה ומעלה כל יצא צבא בישראל--תפקדו אתם לצבאתם אתה ואהרן
4 Munaayambibwako omusajja omu omu okuva mu buli kika, nga ye mukulu w’oluggya lwa bajjajjaabe.
ואתכם יהיו איש איש למטה--איש ראש לבית אבתיו הוא
5 “Gano ge mannya g’abasajja abajja okubayambako: “Aliva mu kika kya Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli;
ואלה שמות האנשים אשר יעמדו אתכם לראובן אליצור בן שדיאור
6 mu kya Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi;
לשמעון שלמיאל בן צורישדי
7 mu kya Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu;
ליהודה נחשון בן עמינדב
8 mu kya Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali;
ליששכר נתנאל בן צוער
9 mu kya Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni.
לזבולן אליאב בן חלן
10 Okuva mu baana ba Yusufu: mu kya Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi; mu kya Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
לבני יוסף--לאפרים אלישמע בן עמיהוד למנשה גמליאל בן פדהצור
11 Aliva mu kika kya Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni;
לבנימן אבידן בן גדעני
12 mu kya Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi;
לדן אחיעזר בן עמישדי
13 mu kya Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani;
לאשר פגעיאל בן עכרן
14 mu kya Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri;
לגד אליסף בן דעואל
15 mu kya Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.”
לנפתלי אחירע בן עינן
16 Abo be basajja abaalondebwa okuva mu kibiina, nga be bakulembeze ab’ebika bya bajjajjaabwe. Abo nga be bakulu b’ebika bya Isirayiri.
אלה קריאי (קרואי) העדה נשיאי מטות אבותם ראשי אלפי ישראל הם
17 Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya gaabwe,
ויקח משה ואהרן את האנשים האלה אשר נקבו בשמת
18 ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abantu bonna ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri. Awo abantu bonna ne beewandiisa mu bujjajja bwabwe ne mu bika byabwe awamu ne mu mpya zaabwe. Abasajja abo abaali bawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, amannya gaabwe ne gawandiikibwa kinnoomu ku lukalala,
ואת כל העדה הקהילו באחד לחדש השני ויתילדו על משפחתם לבית אבתם במספר שמות מבן עשרים שנה ומעלה--לגלגלתם
19 nga Mukama bwe yalagira Musa. Bw’atyo Musa n’ababalira mu Ddungu lya Sinaayi:
כאשר צוה יהוה את משה ויפקדם במדבר סיני
20 Ab’omu bazzukulu ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
ויהיו בני ראובן בכר ישראל תולדתם למשפחתם לבית אבתם במספר שמות לגלגלתם--כל זכר מבן עשרים שנה ומעלה כל יצא צבא
21 Abaabalibwa okuva mu kika kya Lewubeeni baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano.
פקדיהם למטה ראובן--ששה וארבעים אלף וחמש מאות
22 Ab’omu bazzukulu ba Simyoni: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
לבני שמעון תולדתם למשפחתם לבית אבתם פקדיו במספר שמות לגלגלתם--כל זכר מבן עשרים שנה ומעלה כל יצא צבא
23 Abaabalibwa okuva mu kika kya Simyoni baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu.
פקדיהם למטה שמעון--תשעה וחמשים אלף ושלש מאות
24 Ab’omu bazzukulu ba Gaadi: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe, n’eby’empya zaabwe bwe byali.
לבני גד תולדתם למשפחתם לבית אבתם במספר שמות מבן עשרים שנה ומעלה--כל יצא צבא
25 Abaabalibwa okuva mu kika kya Gaadi baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano.
פקדיהם למטה גד--חמשה וארבעים אלף ושש מאות וחמשים
26 Ab’omu bazzukulu ba Yuda: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
לבני יהודה תולדתם למשפחתם לבית אבתם במספר שמת מבן עשרים שנה ומעלה--כל יצא צבא
27 Abaabalibwa okuva mu kika kya Yuda baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga.
פקדיהם למטה יהודה--ארבעה ושבעים אלף ושש מאות
28 Ab’omu bazzukulu ba Isakaali: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe, kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
לבני יששכר תולדתם למשפחתם לבית אבתם במספר שמת מבן עשרים שנה ומעלה--כל יצא צבא
29 Abaabalibwa okuva mu kika kya Isakaali baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina.
פקדיהם למטה יששכר--ארבעה וחמשים אלף וארבע מאות
30 Ab’omu bazzukulu ba Zebbulooni: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
לבני זבולן תולדתם למשפחתם לבית אבתם במספר שמת מבן עשרים שנה ומעלה--כל יצא צבא
31 Abaabalibwa okuva mu kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina.
פקדיהם למטה זבולן--שבעה וחמשים אלף וארבע מאות
32 Okuva mu batabani ba Yusufu: Ab’omu bazzukulu ba Efulayimu Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
לבני יוסף לבני אפרים תולדתם למשפחתם לבית אבתם במספר שמת מבן עשרים שנה ומעלה--כל יצא צבא
33 Abaabalibwa okuva mu kika kya Efulayimu baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano.
פקדיהם למטה אפרים--ארבעים אלף וחמש מאות
34 Ab’omu bazzukulu ba Manase: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
לבני מנשה תולדתם למשפחתם לבית אבתם במספר שמות מבן עשרים שנה ומעלה--כל יצא צבא
35 Abaabalibwa okuva mu kika kya Manase baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri.
פקדיהם למטה מנשה--שנים ושלשים אלף ומאתים
36 Ab’omu bazzukulu ba Benyamini: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
לבני בנימן תולדתם למשפחתם לבית אבתם במספר שמת מבן עשרים שנה ומעלה--כל יצא צבא
37 Abaabalibwa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina.
פקדיהם למטה בנימן--חמשה ושלשים אלף וארבע מאות
38 Ab’omu bazzukulu ba Ddaani: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
לבני דן תולדתם למשפחתם לבית אבתם במספר שמת מבן עשרים שנה ומעלה--כל יצא צבא
39 Abaabalibwa okuva mu kika kya Ddaani baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu.
פקדיהם למטה דן--שנים וששים אלף ושבע מאות
40 Ab’omu bazzukulu ba Aseri: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
לבני אשר תולדתם למשפחתם לבית אבתם במספר שמת מבן עשרים שנה ומעלה--כל יצא צבא
41 Abaabalibwa okuva mu kika kya Aseri baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano.
פקדיהם למטה אשר--אחד וארבעים אלף וחמש מאות
42 Ab’omu bazzukulu ba Nafutaali: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
בני נפתלי תולדתם למשפחתם לבית אבתם במספר שמת מבן עשרים שנה ומעלה--כל יצא צבא
43 Abaabalibwa okuva mu kika kya Nafutaali baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina.
פקדיהם למטה נפתלי--שלשה וחמשים אלף וארבע מאות
44 Abo be basajja Musa ne Alooni be baabala, nga bayambibwako abakulembeze ab’omu Isirayiri ekkumi n’ababiri, nga buli omu akiikiridde ekika kye.
אלה הפקדים אשר פקד משה ואהרן ונשיאי ישראל--שנים עשר איש איש אחד לבית אבתיו היו
45 Abasajja bonna abaana ba Isirayiri abaali bawezezza emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye ga Isirayiri bwe batyo ne babalirwa mu bika byabwe.
ויהיו כל פקודי בני ישראל לבית אבתם מבן עשרים שנה ומעלה כל יצא צבא בישראל
46 Obungi bwabwe bonna abaabalibwa okugatta awamu baali bawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano.
ויהיו כל הפקדים--שש מאות אלף ושלשת אלפים וחמש מאות וחמשים
47 Abazzukulu ab’omu mpya ez’omu bika ebirala bwe baali babalibwa, bo ab’omu kika kya Leevi tebaabalibwa.
והלוים למטה אבתם--לא התפקדו בתוכם
48 Kubanga Mukama Katonda yali agambye Musa nti,
וידבר יהוה אל משה לאמר
49 “Ab’omu kika kya Leevi tababalanga wadde okubagatta awamu n’emiwendo gy’abaana ba Isirayiri abalala.”
אך את מטה לוי לא תפקד ואת ראשם לא תשא בתוך בני ישראל
50 Era n’amugamba nti, “Naye Abaleevi obawanga omulimu ogw’okulabirira Eweema ey’Endagaano n’ebintu byamu byonna awamu ne byonna ebigigenderako. Banaasitulanga Eweema n’ebyamu byonna, banaagirabiriranga era banaasiisiranga okugyetooloola.
ואתה הפקד את הלוים על משכן העדת ועל כל כליו ועל כל אשר לו--המה ישאו את המשכן ואת כל כליו והם ישרתהו וסביב למשכן יחנו
51 Eweema bw’eneebanga etwalibwa mu kifo ekirala, Abaleevi be banaagisimbulanga, era bwe kineetaagisanga okugissa mu kifo awalala, Abaleevi be banaagisimbangawo. Omuntu omulala yenna bw’anaagisembereranga anaafanga.
ובנסע המשכן יורידו אתו הלוים ובחנת המשכן יקימו אתו הלוים והזר הקרב יומת
52 Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga mu bibinja, nga buli musajja ali mu lusiisira lwe n’ebendera ye ku bubwe.
וחנו בני ישראל איש על מחנהו ואיש על דגלו לצבאתם
53 Naye Abaleevi bo banaasimbanga eweema zaabwe okwebungulula Eweema ey’Endagaano, abaana ba Isirayiri baleme kutuukibwako busungu bwa Mukama. Abaleevi be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Endagaano.”
והלוים יחנו סביב למשכן העדת ולא יהיה קצף על עדת בני ישראל ושמרו הלוים את משמרת משכן העדות
54 Abaana ba Isirayiri ne bakola ebyo byonna nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
ויעשו בני ישראל ככל אשר צוה יהוה את משה--כן עשו

< Okubala 1 >