< Makko 7 >

1 Awo abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka abamu abaali bavudde e Yerusaalemi ne bakuŋŋaanira awali Yesu.
Собрались к Нему фарисеи и некоторые из книжников, пришедшие из Иерусалима,
2 Ne balaba abamu ku bayigirizwa be nga balya tebanaabye mu ngalo.
и, увидев некоторых из учеников Его, евших хлеб нечистыми, то есть неумытыми, руками, укоряли.
3 Kubanga Abafalisaayo n’Abayudaaya bonna tebaalyanga nga tebasoose kunaaba mu ngalo n’obwegendereza ng’empisa zaabwe bwe zaali.
Ибо фарисеи и все Иудеи, держась предания старцев, не едят, не умыв тщательно рук;
4 Era bwe baddanga eka nga bava mu katale, ekyo kye baasookanga okukola nga tebannaba kukwata ku kyakulya kyonna. Waliwo n’obulombolombo obulala bwe baagobereranga ng’okulongoosa ensuwa zaabwe, n’ebikopo, n’ebbinika n’essowaani, n’ebirala bingi.
и, придя с торга, не едят не омывшись. Есть и многое другое, чего они приняли держаться: наблюдать омовение чаш, кружек, котлов и скамей.
5 Awo Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne babuuza Yesu nti, “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera mpisa za bajjajjaffe ez’edda? Kubanga balya nga tebanaabye mu ngalo.”
Потом спрашивают Его фарисеи и книжники: зачем ученики Твои не поступают по преданию старцев, но неумытыми руками едят хлеб?
6 Yesu n’abaddamu nti, “Bannanfuusi mmwe! Nnabbi Isaaya yaboogerako bulungi ebyobunnabbi bwe yagamba nti, “‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, naye emitima gyabwe tegindiiko.
Он сказал им в ответ: хорошо пророчествовал о вас, лицемерах, Исаия, как написано: люди сии чтут Меня устами, сердце же их далеко отстоит от Меня,
7 Okusinza kwabwe tekuliimu nsa; kubanga bayigiriza bulombolombo bwabwe.’
но тщетно чтут Меня, уча учениям, заповедям человеческим.
8 Muleka ebiragiro ebiva eri Katonda ne mugoberera obulombolombo bw’abantu.”
Ибо вы, оставив заповедь Божию, держитесь предания человеческого, омовения кружек и чаш, и делаете многое другое, сему подобное.
9 N’abagamba nate nti, “Munyooma ekiragiro kya Katonda, ne muggumiza obulombolombo bwammwe.
И сказал им: хорошо ли, что вы отменяете заповедь Божию, чтобы соблюсти свое предание?
10 Musa yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ Era n’agamba nti, ‘Omuntu yenna ayogera obubi ku kitaawe oba nnyina anattibwanga.’
Ибо Моисей сказал: почитай отца своего и мать свою; и злословящий отца или мать смертью да умрет.
11 Naye mmwe mugamba nti kituufu omuntu okulagajjalira bakadde be nga bali mu kwetaaga n’abagamba bugambi nti, ‘Mmunsonyiwe, kubanga kye nandibawadde ye Korubaani.’”
А вы говорите: кто скажет отцу или матери: корван, то есть дар Богу то, чем бы ты от меня пользовался,
12 “Omuntu temumukkiriza kubeerako ky’akolera kitaawe oba nnyina.
тому вы уже попускаете ничего не делать для отца своего или матери своей,
13 Bwe mutyo munyooma ekigambo kya Katonda mulyoke mutuukirize obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa. N’ebirala bingi ebiri ng’ebyo bye mukola.”
устраняя слово Божие преданием вашим, которое вы установили; и делаете многое сему подобное.
14 Awo Yesu n’ayita ekibiina ky’abantu n’abagamba nti, “Mmwe mwenna, mumpulirize, era mutegeere.
И, призвав весь народ, говорил им: слушайте Меня все и разумейте:
15 Ebintu ebiyingira mu muntu si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo ebiva mu mutima gwe bye bizoonoona.
ничто, входящее в человека извне, не может осквернить его; но что исходит из него, то оскверняет человека.
16 (Omuntu alina amatu agawulira awulirize.)”
Если кто имеет уши слышать, да слышит!
17 Yesu n’aviira ekibiina n’ayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza amakulu g’ebigambo bye yayogera.
И когда Он от народа вошел в дом, ученики Его спросили Его о притче.
18 N’abaddamu nti, “Nammwe temutegedde? Temutegeera nti buli kintu ekiyingira mu muntu si kye kimwonoona?
Он сказал им: неужели и вы так непонятливы? Неужели не разумеете, что ничто, извне входящее в человека, не может осквернить его?
19 Olw’okuba nga tekiyingira mu mutima gwe naye kiyingira mu lubuto lwe ne kiryoka kigenda mu kabuyonjo.” Mu kwogera atyo Yesu yakakasa nga buli kyakulya bwe kiri ekirongoofu.
Потому что не в сердце его входит, а в чрево, и выходит вон, чем очищается всякая пища.
20 Era n’ayongerako na bino nti, “Ebirowoozo by’omuntu bye bimwonoona.
Далее сказал: исходящее из человека оскверняет человека.
21 Kubanga mu mutima gw’omuntu mwe muva ebirowoozo ebibi eby’obukaba, n’obubbi, n’obutemu, n’obwenzi,
Ибо извнутрь, из сердца человеческого, исходят злые помыслы, прелюбодеяния, любодеяния, убийства,
22 n’okwegomba, n’omutima omubi, n’obukuusa, n’obumenyi bw’amateeka, n’obuggya, n’okusekeeterera, n’obusirusiru.
кражи, лихоимство, злоба, коварство, непотребство, завистливое око, богохульство, гордость, безумство,
23 Ebibi bino byonna biva munda mu muntu ne bimwonoona.”
все это зло извнутрь исходит и оскверняет человека.
24 Awo Yesu n’alaga mu bitundu by’e Ttuulo, n’atayagala kitegeerekeke nti ali mu bitundu ebyo, naye ne kitasoboka.
И, отправившись оттуда, пришел в пределы Тирские и Сидонские; и, войдя в дом, не хотел, чтобы кто узнал; но не мог утаиться.
25 Omukazi eyalina muwala we ng’aliko omwoyo omubi, olwawulira nga Yesu yaakatuuka, n’ajja eri Yesu, n’agwa ku bigere bye.
Ибо услышала о Нем женщина, у которой дочь одержима была нечистым духом, и, придя, припала к ногам Его;
26 Omukazi teyali Muyudaaya, yali Musulofoyiniiki, n’amwegayirira agobe dayimooni ku mwana we.
а женщина та была язычница, родом сирофиникиянка; и просила Его, чтобы изгнал беса из ее дочери.
27 Yesu n’agamba omukazi nti, “Omwana asaana asoke akkute, kubanga tekiba kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”
Но Иисус сказал ей: дай прежде насытиться детям, ибо нехорошо взять хлеб у детей и бросить псам.
28 Naye omukazi n’amuddamu nti, “Ekyo bwe kiri, ssebo, naye era n’embwa ezibeera wansi mu mmeeza, ziweebwa ku bukunkumuka obuva ku ssowaani z’abaana.”
Она же сказала Ему в ответ: так, Господи; но и псы под столом едят крохи у детей.
29 Yesu n’amugamba nti, “Olw’ekigambo ekyo, weddireyo eka, kubanga dayimooni avudde ku muwala wo.”
И сказал ей: за это слово, пойди; бес вышел из твоей дочери.
30 Omukazi bwe yaddayo eka yasanga muwala we agalamidde awo ku kitanda, nga muteefu era nga dayimooni amuvuddeko.
И, придя в свой дом, она нашла, что бес вышел и дочь лежит на постели.
31 Yesu bwe yava mu Ttuulo n’agenda e Sidoni, eyo gye yava n’addayo ku nnyanja ey’e Ggaliraaya ng’ayitira mu “Bibuga Ekkumi” (Dekapoli).
Выйдя из пределов Тирских и Сидонских, Иисус опять пошел к морю Галилейскому через пределы Десятиградия.
32 Awo ne bamuleetera omusajja omuggavu w’amatu ate nga tayogera, abantu bonna ne beegayirira Yesu amusseeko emikono gye amuwonye.
Привели к Нему глухого косноязычного и просили Его возложить на него руку.
33 Yesu n’aggya omusajja mu bantu n’amulaza wabbali, n’assa engalo ze mu matu g’omusajja; n’awanda amalusu, n’agasiiga n’olunwe lwe ku lulimi lw’omusajja.
Иисус, отведя его в сторону от народа, вложил персты Свои в уши ему и, плюнув, коснулся языка его;
34 Awo Yesu n’atunula waggulu n’assa ekikkowe, n’alyoka alagira omusajja nti, “Efasa!” ekitegeeza nti, “Gguka.”
и, воззрев на небо, вздохнул и сказал ему: “еффафа”, то есть: отверзись.
35 Amangwago amatu g’omusajja ne gagguka n’awulira buli kintu era n’ayogera bulungi!
И тотчас отверзся у него слух и разрешились узы его языка, и стал говорить чисто.
36 Yesu n’akuutira ekibiina baleme kutegeezaako balala ku bigambo ebyo okubisaasaanya, naye bo ne beeyongera okutegeeza.
И повелел и не сказывать никому. Но сколько Он ни запрещал им, они еще более разглашали.
37 Kye yakola kyali kibayitiriddeko. Ne boogera nga batenda Yesu nti, “Buli ky’akola kya kyewuunyo, aggula n’amatu ga bakiggala n’ayogeza ne bakasiru!”
И чрезвычайно дивились, и говорили: все хорошо делает, - и глухих делает слышащими, и немых говорящими.

< Makko 7 >