< Lukka 7 >

1 Awo Yesu bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo ebyo byonna n’ayingira mu Kaperunawumu.
А кад сврши све речи своје пред народом, дође у Капернаум.
2 Mu kiseera ekyo, omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, yalina omuddu we gwe yali ayagala ennyo, yali mulwadde nnyo ng’ali kumpi n’okufa.
У капетана пак једног беше слуга болестан на умору који му беше мио.
3 Omukulu w’ekitongole oyo bwe yawulira ebifa ku Yesu, n’atuma abamu ku bakulembeze b’Abayudaaya eri Yesu bamusabe ajje awonye omuddu we.
А кад чу за Исуса, посла к Њему старешине јудејске молећи Га да би дошао да му исцели слугу.
4 Bwe baatuuka eri Yesu ne bamwegayirira nnyo nga bagamba nti, “Omusajja ono asaanira okuyambibwa nga bw’akusabye,
А они дошавши к Исусу мољаху Га лепо говорећи: Достојан је да му то учиниш;
5 kubanga ayagala nnyo eggwanga lyaffe, era ye yatuzimbira ne kkuŋŋaaniro lyaffe!”
Јер љуби народ наш, и начини нам зборницу.
6 Bw’atyo Yesu n’agenda nabo. Naye Yesu bwe yali akyali mu kkubo nga tannatuuka ku nnyumba, omukulu w’ekitongole n’atuma mikwano gye eri Yesu ng’agamba nti, “Mukama wange, teweeteganya bw’otyo, kubanga nze sisaanira kukusembeza mu nju yange.
А Исус иђаше с њима. И кад већ беху близу куће, посла капетан к Њему пријатеље говорећи Му: Господе! Не труди се, јер нисам достојан да уђеш под моју стреху;
7 Era kyenavudde nnema okujja gy’oli nze nzennyini. Naye yogera bwogezi ekigambo, omuweereza wange anaawona!
Зато и не држах себе достојног да Ти дођем, него само реци реч, и оздравиће слуга мој.
8 Kubanga nange nnina abakulu abantwala, ate waliwo n’abali wansi wange be nninako obuyinza. Bwe ŋŋamba ono nti, ‘Genda,’ agenda, n’omulala nti, ‘Jjangu,’ ajja; n’omuddu wange nti, ‘Kola kino,’ akikola.”
Јер и ја сам човек под власти, и имам под собом војнике, па кажем једном: Иди, и иде; и другом: Дођи, и дође; и слузи свом: Учини то, и учини.
9 Yesu bwe yawulira ebigambo ebyo n’amwewuunya nnyo, n’akyukira ekibiina ky’abantu abaali bamugoberera n’agamba nti, “Mbagamba nti sirabanga kukkiriza kunene nga kuno, wadde mu Isirayiri.”
А кад то чу Исус, зачуди му се, и окренувши се народу који иђаше за Њим рече: Кажем вам: ни у Израиљу толике вере не нађох.
10 Awo omukulu w’ekitongole be yatuma eri Yesu bwe baddayo mu nnyumba ye, baasanga omuddu awonye.
И вративши се послани нађоше болесног слугу здравог.
11 Awo ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda n’abayigirizwa be n’ekibiina kinene ne kimugoberera mu kibuga ekiyitibwa Nayini.
И потом иђаше у град који се зови Наин, и с Њим иђаху многи ученици Његови и мноштво народа.
12 Bwe yali asemberera omulyango gw’ekibuga, laba, abantu ne bafuluma mu kibuga nga beettisse omulambo gw’omuvubuka eyali mutabani w’omukazi nnamwandu, ate nga ye mwana we yekka. Ekibiina ky’abantu abaali bava mu kibuga baali bangi nnyo.
Кад се приближише к вратима градским, и гле, изношаху мртваца, јединца сина матере његове, и она беше удовица и народа из града много иђаше с њом.
13 Awo Mukama waffe bwe yalaba nnamwandu n’amusaasira, n’amugamba nti, “Tokaaba.”
И видевши је Господ сажали Му се за њом, и рече јој: Не плачи.
14 N’asemberera essanduuko, abaali bagisitudde ne bayimirira, Yesu n’ayogera nti, “Omuvubuka, nkulagira nti ggolokoka!”
И приступивши прихвати за сандук; а носиоци стадоше, и рече: Момче! Теби говорим, устани.
15 Eyali afudde n’atuula era n’atandika okwogera. Yesu n’amuddiza nnyina.
И седе мртвац и стаде говорити; и даде га матери његовој.
16 Buli omu n’ajjula entiisa, ne batendereza Katonda nga bagamba nti, “Nnabbi ow’amaanyi atulabikidde, era Katonda akyalidde abantu be.”
А страх обузе све, и хваљаху Бога говорећи: Велики пророк изиђе међу нама, и Бог походи народ свој.
17 Ebigambo ebyo ne bibuna Buyudaaya yonna n’okwetooloola emiriraano gyayo.
И отиде глас овај о Њему по свој Јудеји и по свој околини.
18 Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza ne bategeeza Yokaana ebintu ebyo byonna. Yokaana n’ayita abayigirizwa be babiri,
И јавише Јовану ученици његови за све ово.
19 n’abatuma eri Mukama waffe okumubuuza nti, “Ggwe wuuyo gwe tusuubira okujja, oba tulindirireyo omulala?”
И дозвавши Јован два од ученика својих посла их к Исусу говорећи: Јеси ли ти Онај што ће доћи, или другог да чекамо?
20 Abayigirizwa ba Yokaana bwe baatuuka eri Yesu, ne bamutegeeza nti, “Yokaana Omubatiza atutumye okukubuuza nti, Ggwe wuuyo ajja oba tulindirirayo omulala?”
Дошавши пак људи к Њему рекоше: Јован крститељ посла нас к теби говорећи: Јеси ли ти Онај што ће доћи, или другог да чекамо?
21 Mu kiseera ekyo Yesu n’awonya endwadde nnyingi eza buli ngeri: n’abalema, n’abaaliko emyoyo emibi, n’azibula n’abazibe b’amaaso.
А у тај час исцели многе од болести и од мука и од злих духова, и многима слепима дарова вид.
22 Abaatumibwa n’abaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumutegeeze byonna bye muwulidde ne bye mulabye. Abazibe b’amaaso bazibulwa amaaso ne balaba, n’abalema batambula, n’abagengebalongoosebwa, n’abaggavu b’amatu gagguka ne bawulira, n’abafu bazuukizibwa, era n’abaavu babuulirwa Enjiri.
И одговарајући Исус рече им: Идите и кажите Јовану шта видесте и чусте: слепи прогледају, хроми ходе, губави чисте се, глуви чују, мртви устају, сиромашнима проповеда се јеванђеље.
23 Era alina omukisa oyo atanneesittalako.”
И благо ономе који се не саблазни о мене.
24 Awo ababaka ba Yokaana bwe baagenda, Yesu n’abuulira ekibiina ebikwata ku Yokaana. N’ababuuza nti, “Bwe mwagenda mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo?
А кад отидоше ученици Јованови, поче народу говорити за Јована: Шта сте изишли у пустињи да видите? Трску, коју љуља ветар?
25 Naye mwagenderera kulaba ki? Omusajja ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba abambadde engoye ezinekaaneka, nga babeera mu bulamu bwa kikungu era babeera mu mbiri.
Шта сте, дакле, изашли да видите? Човека у меке хаљине обучена? Ето, који господске хаљине носе и у сластима живе по царским су дворовима.
26 Naye mwagenderera kulaba ki? Nnabbi? Weewaawo ka mbabuulire, oyo asinga ne nnabbi.
Шта сте дакле изишли да видите? Пророка? Да, ја вам кажем, и више од пророка;
27 Y’oyo ebyawandiikibwa gwe byogerako nti, “‘Laba, ntuma omubaka wange okukukulembera, y’alikuteekerateekera ekkubo lyo mu maaso go.’”
Јер је ово онај за кога је писано: Ето ја шаљем анђела свог пред лицем Твојим који ће приправити пут Твој пред Тобом.
28 “Mbagamba nti, mu bantu bonna abaali bazaaliddwa abakazi, tewali mukulu wa kitiibwa kukira Yokaana, naye ate oyo asembayo mu bwakabaka bwa Katonda asinga Yokaana ekitiibwa.”
Јер вам кажем: Ниједан између рођених од жена није већи пророк од Јована крститеља; а најмањи у царству Божијем већи је од њега.
29 Abantu bonna, awamu n’abasolooza b’omusolo, bwe baawulira ebigambo bya Yesu ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga baali babatiziddwa mu kubatizibwa kwa Yokaana.
И сви људи који слушаху и цариници оправдаше Бога, и крстише се крштењем Јовановим;
30 Naye Abafalisaayo n’abayigiriza b’amateeka ne bagaana ebyo Katonda bye yabategekera, kubanga tebaabatizibwa Yokaana.
А фарисеји и књижевници одбацише савет Божји за њих, И не хтеше да их он крсти.
31 Awo Yesu n’abuuza nti, “Abantu ab’omulembe guno mbageraageranye na ki? Bafaanana batya?
А Господ рече: Какви ћу казати да су људи овог рода? И какви су?
32 Bafaanana ng’abaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagambagana nti, “‘Bwe twabafuuyira omulere, temwazina, Bwe twayimba oluyimba olw’okukungubaga, temwakungubaga.’
Они су као деца која седе по улицама и дозивају једно друго и говоре: Свирасмо вам, и не играсте, жалисмо вам се, и не плакасте.
33 Kubanga Yokaana Omubatiza bwe yajja teyalyanga mmere wadde okunywa omwenge, ne mugamba nti, ‘Aliko dayimooni!’
Јер дође Јован крститељ који ни једе хлеб ни пије вино, а ви кажете: Ђаво је у њему;
34 Omwana w’Omuntu azze ng’alya emmere era ng’anywa ne mugamba nti, ‘Laba wa mululu era mutamiivu, mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi!’
Дође Син човечији који и једе и пије, а ви кажете: Гле човека изелице и пијанице, друга цариницима и грешницима.
35 Naye amagezi geeragira mu butuukirivu olw’abaana baago bonna.”
И оправдаше премудрост сва деца њена.
36 Awo omu ku Bafalisaayo n’ayita Yesu ku kijjulo, Yesu n’ayingira mu nnyumba, n’atuula ku mmeeza.
Мољаше Га пак један од фарисеја да би обедовао у њега; и ушавши у кућу фарисејеву седе за трпезу:
37 Awo omukazi ow’omu kibuga ekyo nga mwonoonyi, eyali ategedde nga Yesu ali mu nju eyo ey’Omufalisaayo, n’aleeta eccupa y’amafuta ag’akaloosa.
И гле, жена у граду која беше грешница дознавши да је Исус за трпезом у кући фарисејевој, донесе скленицу мира;
38 N’ayimirira awali Yesu, n’akaaba, amaziga ne gatonnya ku bigere bya Yesu ne bitoba. Omukazi n’abisiimuuza enviiri ze, era n’abinywegera; n’abifukako amafuta ag’akaloosa.
И ставши састраг код ногу Његових плакаше, и стаде прати ноге Његове сузама, и косом од своје главе отираше, и целиваше ноге Његове, и мазаше миром.
39 Naye Omufalisaayo eyayita Yesu, ebyo bwe yabiraba, n’agamba munda ye nti, “Singa omuntu ono abadde nnabbi, yanditegedde omukazi amukwatako kyali era nga bw’ali omwonoonyi!”
А кад виде фарисеј који Га је дозвао, рече у себи говорећи: Да је он пророк, знао би ко и каква га се жена дотиче: јер је грешница.
40 Awo Yesu n’amugamba nti, “Simooni, nnina kye njagala okukubuulira.” Simooni n’addamu nti, “Omuyigiriza, mbuulira.”
И одговарајући Исус рече му: Симоне! Имам ти нешто казати. А он рече: Учитељу! Кажи.
41 “Waaliwo abantu babiri, omuwozi w’ensimbi be yali abanja. Omu yali amubanja ddinaali ebikumi bitaano, n’omulala ddinaali amakumi ataano.
А Исус рече: Двојица беху дужни једном дужнику, један беше дужан пет стотина динара, а други педесет.
42 Naye ku bombi nga tekuliiko asobola kusasula bbanja lye. Eyali ababanja kwe kubasonyiwa. Kale, ku bombi aluwa alisinga okumwagala?”
А кад они не имадоше да му врате, поклони обојици. Кажи који ће га од њих двојице већма љубити.
43 Simooni n’addamu nti, “Ndowooza oyo gwe yasonyiwa ebbanja erisingako obunene.” Yesu n’amugamba nti, “Olamudde bulungi.”
А Симон одговарајући рече: Мислим онај коме највише поклони. А Он му рече: Право си судио.
44 N’alyoka akyukira omukazi n’agamba Simooni nti, “Omukazi ono omulaba? Bwe nayingidde mu nnyumba yo, tewampadde mazzi ga kunaaba ku bigere byange. Naye abinaazizza n’amaziga ge n’abisiimuula n’enviiri ze.
И окренувши се к жени рече Симону: Видиш ли ову жену? Ја уђох у твоју кућу, ни воде ми на ноге ниси дао; а она сузама обли ми ноге, и косом од главе своје отре.
45 Tewannyanirizza na kunnywegera, naye anywegedde ebigere byange emirundi mingi okuva lwe nayingidde.
Целива ми ниси дао; а она откако уђох не преста целивати ми ногу.
46 Tewansiize mafuta ku mutwe gwange, naye ye asiize ebigere byange amafuta ag’akaloosa.
Уљем ниси помазао главе моје; а она миром помаза ми ноге.
47 Noolwekyo nkutegeeza nti omukazi ono asonyiyiddwa ebibi bye ebingi kubanga okwagala kwe kungi, naye oyo asonyiyibwa ebitono n’okwagala kwe kuba kutono.”
Зато кажем ти: опраштају јој се греси многи, јер је велику љубав имала; а коме се мало опрашта има малу љубав.
48 Awo Yesu n’agamba omukazi nti, “Osonyiyiddwa ebibi byo.”
А њој рече: Опраштају ти се греси.
49 Abo abaali ne Yesu ku mmeza ne beebuuzaganya nti, “Ono ye ani asonyiwa n’ebibi?”
И стадоше у себи говорити они што сеђаху с Њим за трпезом: Ко је Овај што и грехе опрашта?
50 Yesu n’agamba omukazi nti, “Okukkiriza kwo kukulokodde, genda mirembe.”
А жени рече: Вера твоја поможе ти; иди с миром.

< Lukka 7 >