< Lukka 3 >

1 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’okufuga kwa Kayisaali Tiberiyo, Pontiyo Piraato bwe yali nga ye gavana wa Buyudaaya, Kerode nga y’afuga Ggaliraaya, muganda we Firipo nga y’afuga Italiya ne Tirakoniti, ne Lusaniya nga y’afuga Abireene,
Or nell’anno decimoquinto dell’impero di Tiberio Cesare, essendo Ponzio Pilato governatore della Giudea, ed Erode tetrarca della Galilea, e Filippo, suo fratello, tetrarca dell’Iturea e della Traconitide, e Lisania tetrarca dell’Abilene,
2 Ana ne Kayaafa nga be Bakabona Abasinga Obukulu, Yokaana, mutabani wa Zaakaliya ng’ali mu ddungu, n’afuna obubaka obuva eri Katonda.
sotto i sommi sacerdoti Anna e Caiàfa, la parola di Dio fu diretta a Giovanni, figliuol di Zaccaria, nel deserto.
3 Yokaana n’atambulanga ng’agenda abuulira mu bitundu ebyetoolodde Yoludaani, ng’ategeeza abantu obubaka obw’okubatizibwa obw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi,
Ed egli andò per tutta la contrada d’intorno al Giordano, predicando un battesimo di ravvedimento per la remissione de’ peccati,
4 nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky’ebigambo bya nnabbi Isaaya nti, “Eddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddungu nti, Mulongoose ekkubo lya Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge;
secondo che è scritto nel libro delle parole del profeta Isaia: V’è una voce d’uno che grida nel deserto: Preparate la via del Signore, addirizzate i suoi sentieri.
5 Buli kiwonvu kirijjuzibwa, na buli lusozi n’akasozi birisendebwa, na buli ekyakyama kirigololwa, n’obukubo obulimu obugulumugulumu bulifuuka enguudo ez’omuseetwe.
Ogni valle sarà colmata ed ogni monte ed ogni colle sarà abbassato; le vie tortuose saran fatte diritte e le scabre saranno appianate;
6 Abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.”
ed ogni carne vedrà la salvezza di Dio.
7 Kyeyava agamba abantu abajjanga gy’ali okubatizibwa nti, “Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?
Giovanni dunque diceva alle turbe che uscivano per esser battezzate da lui: Razza di vipere, chi v’ha mostrato a fuggir dall’ira a venire?
8 Kale mubale ebibala ebiraga nga mwenenyezza, so temwogera munda zammwe nti tulina jjajjaffe Ibulayimu. Kubanga mbagamba nti Katonda asobola, mu mayinja gano, okuggyiramu Ibulayimu abazzukulu.
Fate dunque dei frutti degni del ravvedimento, e non vi mettete a dire in voi stessi: Noi abbiamo Abramo per padre! Perché vi dico che Iddio può da queste pietre far sorgere dei figliuoli ad Abramo.
9 Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti. Noolwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwawo gusuulibwe mu muliro.”
E ormai è anche posta la scure alla radice degli alberi; ogni albero dunque che non fa buon frutto, vien tagliato e gittato nel fuoco.
10 Ekibiina ne kimumubuuza nti, “Kale tukole ki?”
E le turbe lo interrogavano, dicendo: E allora, che dobbiam fare?
11 Yokaana n’abaddamu ng’agamba nti, “Alina ekkooti ebbiri, emu agigabire atalina, n’oyo alina emmere aweeko oyo atalina kyakulya.”
Ed egli rispondeva loro: Chi ha due tuniche, ne faccia parte a chi non ne ha; e chi ha da mangiare, faccia altrettanto.
12 Awo abasolooza b’omusolo nabo, ne bajja babatizibwe. Ne babuuza Yokaana nti, “Omuyigiriza tukole ki?”
Or vennero anche dei pubblicani per esser battezzati, e gli dissero: Maestro, che dobbiam fare?
13 Yokaana n’abaddamu nti, “Temusoloozanga muwendo gusukka ku ogwo ogwalagibwa.”
Ed egli rispose loro: Non riscotete nulla di più di quello che v’è ordinato.
14 Abaserikale nabo ne babuuza Yokaana nti, “Ate ffe, tukole tutya?” Yokaana n’abagamba nti, “Temuggyangako bantu nsimbi zaabwe. So temubawaayirizanga, n’empeera ebaweebwa ebamalenga.”
Lo interrogaron pure de’ soldati, dicendo: E noi, che dobbiam fare? Ed egli a loro: Non fate estorsioni, né opprimete alcuno con false denunzie e contentatevi della vostra paga.
15 Abantu baali balindirira nga basuubira, era nga buli muntu yeebuuza obanga Yokaana ye Kristo.
Or stando il popolo in aspettazione e domandandosi tutti in cuor loro riguardo a Giovanni se talora non fosse lui il Cristo,
16 Yokaana n’addamu bonna ng’agamba nti, “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ajja, alina obuyinza okunsinga, n’okusaanira sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze. Oyo alibabatiza n’omuliro ne Mwoyo Mutukuvu;
Giovanni rispose, dicendo a tutti: Ben vi battezzo io con acqua; ma vien colui che è più forte di me, al quale io non son degno di sciogliere il legaccio dei calzari. Egli vi battezzerà con lo Spirito Santo e col fuoco.
17 n’olugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye n’okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.”
Egli ha in mano il suo ventilabro per nettare interamente l’aia sua, e raccogliere il grano nel suo granaio; ma quant’è alla pula la brucerà con fuoco inestinguibile.
18 Yokaana n’abuulirira abantu ebigambo bingi ebirala, nga bw’ababuulira Enjiri.
Così, con molte e varie esortazioni, evangelizzava il popolo;
19 Naye Yokaana bwe yanenya Kerode, omufuzi, olw’okutwala Kerodiya eyali muka muganda we, n’olw’ebibi ebirala Kerode bye yali akoze,
ma Erode, il tetrarca, essendo da lui ripreso riguardo ad Erodiada, moglie di suo fratello, e per tutte le malvagità ch’esso Erode avea commesse,
20 ate ku ebyo byonna Kerode n’ayongerako na kino: n’akwata Yokaana n’amuggalira mu kkomera.
aggiunse a tutte le altre anche questa, di rinchiudere Giovanni in prigione.
21 Olunaku lumu, abantu bonna abaaliwo nga babatizibwa, ne Yesu n’abatizibwa. Yesu n’asaba, eggulu ne libikkuka,
Or avvenne che come tutto il popolo si faceva battezzare, essendo anche Gesù stato battezzato, mentre stava pregando, s’aprì il cielo,
22 Mwoyo Mutukuvu n’amukkako mu kifaananyi eky’ejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”
e lo Spirito Santo scese su lui in forma corporea a guisa di colomba; e venne una voce dal cielo: Tu sei il mio diletto Figliuolo; in te mi sono compiaciuto.
23 Yesu yali awezezza emyaka ng’amakumi asatu bwe yatandika omulimu gwe. Yesu nga bwe kyalowoozebwa, yali mwana wa Yusufu: ne Yusufu nga mwana wa Eri,
E Gesù, quando cominciò anch’egli ad insegnare, avea circa trent’anni ed era figliuolo come credevasi, di Giuseppe,
24 Eri nga mwana wa Mattati, ne Mattati nga mwana wa Leevi, ne Leevi nga mwana wa Mereki, ne Mereki nga mwana wa Yanayi, ne Yanayi nga mwana wa Yusufu,
di Heli, di Matthat, di Levi, di Melchi, di Jannai, di Giuseppe,
25 ne Yusufu nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Amosi, ne Amosi nga mwana wa Nakkumu, ne Nakkumu nga mwana wa Esuli, ne Esuli nga mwana wa Naggayi,
di Mattatia, di Amos, di Naum, di Esli, di Naggai,
26 ne Naggayi nga mwana wa Maasi, ne Maasi nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Semeyini, ne Semeyini nga mwana wa Yoseki, ne Yoseki nga mwana wa Yoda,
di Maath, di Mattatia, di Semein, di Josech, di Joda,
27 ne Yoda nga mwana wa Yokanaani, ne Yokanaani nga mwana wa Lesa, ne Lesa nga mwana wa Zerubbaberi, ne Zerubbaberi nga mwana wa Seyalutyeri, ne Seyalutyeri nga mwana wa Neeri,
di Joanan, di Rhesa, di Zorobabele, di Salatiel, di Neri,
28 ne Neeri nga mwana wa Mereki, ne Mereki nga mwana wa Addi, ne Addi nga mwana wa Kosamu, ne Kosamu nga mwana wa Erumadamu, ne Erumadamu nga mwana wa Eri,
di Melchi, di Addi, di Cosam, di Elmadam, di Er,
29 ne Eri nga mwana wa Yoswa, ne Yoswa nga mwana wa Eryeza, ne Eryeza nga mwana wa Yolimu, ne Yolimu nga mwana wa Mattati, ne Mattati nga mwana wa Leevi,
di Gesù, di Eliezer, di Jorim, di Matthat,
30 ne Leevi nga mwana wa Simyoni, ne Simyoni nga mwana wa Yuda, ne Yuda nga mwana wa Yusufu, ne Yusufu nga mwana wa Yonamu, ne Yonamu nga mwana wa Eriyakimu,
di Levi, di Simeone, di Giuda, di Giuseppe, di Jonam, di Eliakim,
31 ne Eriyakimu nga mwana wa Mereya, ne Mereya nga mwana wa Menna, ne Menna nga mwana wa Mattasa, ne Mattasa nga mwana wa Nasani, ne Nasani nga mwana wa Dawudi,
di Melea, di Menna, di Mattatha, di Nathan, di Davide,
32 ne Dawudi nga mwana wa Yese, ne Yese nga mwana wa Obedi, ne Obedi nga mwana wa Bowaazi, ne Bowaazi nga mwana wa Salumooni, ne Salumooni nga mwana wa Nakusoni,
di Jesse, di Jobed, di Boos, di Sala, di Naasson,
33 ne Nakusoni nga mwana wa Amminadaabu, ne Aminadaabu nga mwana wa Aluni, ne Aluni nga mwana wa Kezulooni, ne Kezulooni nga mwana wa Pereezi, ne Pereezi nga mwana wa Yuda,
di Aminadab, di Admin, di Arni, di Esrom, di Fares, di Giuda,
34 ne Yuda nga mwana wa Yakobo, ne Yakobo nga mwana wa Isaaka, ne Isaaka nga mwana wa lbulayimu, ne Ibulayimu nga mwana wa Teera, ne Teera nga mwana wa Nakoli,
di Giacobbe, d’Isacco, d’Abramo, di Tara, di Nachor,
35 ne Nakoli nga mwana wa Serugi, ne Serugi nga mwana wa Lewu, ne Lewu nga mwana wa Peregi, ne Peregi nga mwana wa Eberi, ne Eberi nga mwana wa Seera,
di Seruch, di Ragau, di Falek, di Eber, di Sala,
36 ne Sera nga mwana wa Kayinaani, ne Kayinaani nga mwana wa Alupakusaadi, ne Alupakusaadi nga mwana wa Seemu, ne Seemu nga mwana wa Nuuwa, ne Nuuwa nga mwana wa Lameka,
di Cainam, di Arfacsad, di Sem, di Noè,
37 ne Lameka nga mwana wa Mesuseera, ne Mesuseera nga mwana wa Enoki, ne Enoki nga mwana wa Yaledi, ne Yaledi nga mwana wa Makalaleri, ne Makalaleri nga mwana wa Kayinaani,
di Lamech, di Mathusala, di Enoch, di Jaret, di Maleleel, di Cainam,
38 ne Kayinaani nga mwana wa Enosi, ne Enosi nga mwana wa Seezi, ne Seezi nga mwana wa Adamu, ne Adamu nga mwana wa Katonda.
di Enos, di Seth, di Adamo, di Dio.

< Lukka 3 >