< Lukka 13 >

1 Mu kiseera ekyo ne wabaawo abategeeza Yesu nga Piraato bwe yatta Abagaliraaya, omusaayi gwabwe n’agutabula mu biweebwayo byabwe.
Upravo u taj čas dođoše neki te mu javiše što se dogodilo s Galilejcima kojih je krv Pilat pomiješao s krvlju njihovih žrtava.
2 Yesu n’abagamba nti, “Mulowooza nti Abagaliraaya abo baali boonoonyi nnyo okusinga Abagaliraaya abalala bonna, balyoke baboneebone batyo?
Isus im odgovori: “Mislite li da ti Galilejci, jer tako postradaše, bijahu grešniji od drugih Galilejaca?
3 Nedda! Mbagamba nti bwe muteenenya nammwe mugenda kuzikirira ng’abo bwe baazikirira.
Nipošto, kažem vam, nego ako se ne obratite, svi ćete slično propasti!
4 Ate bali ekkumi n’omunaana omunaala gwa Sirowamu be gwagwako, ne gubatta, mulowooza be baali basinga obwonoonyi okusinga abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi bonna?
Ili onih osamnaest na koje se srušila kula u Siloamu i ubila ih, zar mislite da su oni bili veći dužnici od svih Jeruzalemaca?
5 Nedda! Mbagamba nti bwe muteenenya nammwe bwe mugenda okuzikirira bwe mutyo.”
Nipošto, kažem vam, nego ako se ne obratite, svi ćete tako propasti.”
6 Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Waaliwo omusajja eyasimba omutiini mu nnimiro ye. N’agendangayo okugulambula okulaba obanga gubazeeko ebibala, n’asanga nga tegubazeeko kibala na kimu.
Nato im pripovjedi ovu prispodobu: “Imao netko smokvu zasađenu u svom vinogradu. Dođe tražeć ploda na njoj i ne nađe
7 Kyeyava alagira omusajja we amulimira ennimiro eyo nti, ‘Omuti guno gutemewo. Kubanga gino emyaka esatu nga nambula omuti guno, naye tegubalangako kibala na kimu. Gwemalira bwereere ettaka lyaffe.’
pa reče vinogradaru: 'Evo, već tri godine dolazim i tražim ploda na ovoj smokvi i ne nalazim. Posijeci je. Zašto da iscrpljuje zemlju?'
8 Omulimi we n’addamu nti, ‘Mukama wange, tuguleke tetugutemawo. Ka tuguweeyo omwaka gumu, nzija kugutemeratemera era nguteekeko n’ebigimusa.
A on mu odgovori: 'Gospodaru, ostavi je još ove godine dok je ne okopam i ne pognojim.
9 Bwe gulibala ebibala gye bujja, kiriba kirungi! Naye bwe gutalibala, olwo noolyoka ogutemawo.’”
Možda će ubuduće ipak uroditi. Ako li ne, posjeći ćeš je.'”
10 Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro,
Jedne je subote naučavao u nekoj sinagogi.
11 ne wabaawo omukazi eyaliko omuzimu ogwamulwaza okumala emyaka kkumi na munaana, nga yeewese emirundi ebiri era nga tasobola kwegolola.
Kad eto žene koja je osamnaest godina imala duha bolesti. Bila je zgrbljena i nikako se nije mogla uspraviti.
12 Yesu n’amulaba, n’amuyita n’amugamba nti, “Mukazi wattu, owonyezeddwa obulwadde bwo.”
Kad je Isus opazi, dozva je i reče joj: “Ženo, oslobođena si svoje bolesti!”
13 N’amukwatako. Amangwago omukazi ne yeegolola n’ayimirira bulungi, n’atendereza Katonda!
I položi na nju ruke, a ona se umah uspravi i poče slaviti Boga.
14 Naye omukulembeze w’ekkuŋŋaaniro eryo n’anyiiga nnyo, kubanga Yesu yawonya ku lunaku lwa Ssabbiiti. N’agamba ekibiina nti, “Mu wiiki mulimu ennaku mukaaga, muyinza okujjanga mu nnaku ezo ne muwonyezebwa, naye so si ku Ssabbiiti!”
Nadstojnik sinagoge - ozlovoljen što je Isus u subotu izliječio - govoraše mnoštvu: “Šest je dana u koje treba raditi! U te dakle dane dolazite i liječite se, a ne u dan subotni!”
15 Mukama waffe n’amuddamu nti, “Bannanfuusi mmwe! Buli omu ku mmwe tasumulula nte ye oba ndogoyi ye ku Ssabbiiti n’agitwala okunywa amazzi?
Odgovori mu Gospodin: “Licemjeri! Ne driješi li svaki od vas u subotu svoga vola ili magarca od jasala da ga vodi na vodu?
16 Naye si kituufu omukazi ono, muwala wa Ibulayimu, okusumululwa ku Ssabbiiti mu busibe bwa Setaani bw’amazeemu emyaka ekkumi n’omunaana?”
Nije li dakle i ovu kćer Abrahamovu, koju Sotona sveza evo osamnaest je već godina, trebalo odriješiti od tih spona u dan subotni?”
17 Bwe yayogera bw’atyo abaali bamuwakanya bonna ne baswala, naye ekibiina ky’abantu bonna ne bajjula essanyu olw’ebintu eby’ekitalo bye yakola.
Na te njegove riječi postidješe se svi protivnici njegovi, a sav se narod radovaše zbog svega čime se on proslavio.
18 Awo Yesu kyeyava abayigiriza ng’agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? Mbugeraageranye na ki?
Govoraše dakle: “Čemu je slično kraljevstvo Božje? Čemu da ga prispodobim?
19 Bufaanana na kaweke ka kaladaali omusajja ke yasiga mu nnimiro ye. Kaamera ne kavaamu omuti, n’ennyonyi ez’omu bbanga ne zituula ku matabi gaagwo.”
Ono je kao kad čovjek uze gorušičino zrno i baci ga u svoj vrt. Uzraste i razvi se u stablo te mu se ptice nebeske gnijezde po granama.”
20 Ate era n’agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda mbugeraageranye na ki?
I opet im reče: “Čemu da prispodobim kraljevstvo Božje?
21 Buliŋŋanga ekizimbulukusa omukazi kye yatabulira mu bipimo by’obuwunga bisatu okutuusa obuwunga bwonna lwe bwazimbulukuka.”
Ono je kao kad žena uze kvasac i zamijesi ga u tri mjere brašna dok sve ne uskisne.”
22 Awo Yesu n’ayita mu bibuga ne mu bubuga; yagendanga ayigiriza ng’ali ku lugendo lwe ng’agenda e Yerusaalemi.
Putujući tako u Jeruzalem, prolazio je i naučavao gradovima i selima.
23 Ne wabaawo eyeewuunya nti, “Mukama waffe, abantu abalirokolebwa nga baliba batono?” Yesu n’addamu nti,
Reče mu tada netko: “Gospodine, je li malo onih koji se spasavaju?” A on im reče:
24 “Mufube okuyingira mu mulyango omufunda kubanga mbagamba nti, bangi balyagala okuyingira naye tebalisobola.
“Borite se da uđete na uska vrata jer mnogi će, velim vam, tražiti da uđu, ali neće moći.”
25 Nannyinimu bw’alisituka n’aggalawo oluggi, mugenda kubeera bweru nga mukonkona nga bwe mwegayirira nti, ‘Mukama waffe, tuggulirewo.’ Agenda kubaanukula nti, ‘Sibamanyi, ne gye muva simanyiiyo.’
“Kada gospodar kuće ustane i zaključa vrata, a vi stojeći vani počnete kucati na vrata: 'Gospodine, otvori nam!', on će vam odgovoriti: 'Ne znam vas odakle ste!'
26 Nammwe muliddamu nti, ‘Twalyanga naawe era twanywanga ffenna, era wayigirizanga mu nguudo z’ewaffe.’
Tada ćete početi govoriti: 'Pa mi smo s tobom jeli i pili, po našim si trgovima naučavao!'
27 Naye alibaddamu nti, ‘Sibamanyi, ne gye muva simanyiiyo. Munviire mwenna abakozi b’ebitali bya bituukirivu.’
A on će vam reći: 'Kažem vam: ne znam odakle ste. Odstupite od mene, svi zlotvori!'”
28 Era waliba okukuba ebiwoobe n’okuluma obujiji bwe muliraba Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo ne bannabbi bonna nga bali mu bwakabaka bwa Katonda, naye nga mmwe musuulibbwa ebweru.
“Ondje će biti plač i škrgut zubi kad ugledate Abrahama i Izaka i Jakova i sve proroke u kraljevstvu Božjem, a sebe vani, izbačene.
29 Kubanga abantu baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba, ne bava ne mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, ne batuula ku mmeeza mu bwakabaka bwa Katonda.
I doći će s istoka i zapada, sa sjevera i juga i sjesti za stol u kraljevstvu Božjem.
30 Era laba, abooluvannyuma baliba aboolubereberye, n’aboolubereberye baliba abooluvannyuma.”
Evo, ima posljednjih koji će biti prvi, ima i prvih koji će biti posljednji.”
31 Mu kiseera ekyo ne wabaawo abamu ku Bafalisaayo abajja eri Yesu ne bamugamba nti, “Tambula ove wano, kubanga Kerode ayagala kukutta.”
U taj čas pristupe neki farizeji i reknu mu: “Otiđi, otputuj odavde jer te Herod hoće ubiti.”
32 Yesu n’abaddamu nti, “Mugende mugambe ekibe ekyo nti laba ngoba baddayimooni, n’okuwonya abalwadde, leero, n’enkya, era ku lunaku olwokusatu ndimaliriza.
A on će njima: “Idite i kažite toj lisici: 'Evo, izgonim đavle i liječim danas i sutra, a treći dan dovršujem.
33 Naye leero, n’enkya, ne luli nsaana mbeere ku lugendo lwange nga ntambula, kubanga tekisoboka nnabbi okufiira ebweru wa Yerusaalemi!
Ali danas, sutra i prekosutra moram nastaviti put jer ne priliči da prorok pogine izvan Jeruzalema.'”
34 “Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi, atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana!
“Jeruzaleme, Jeruzaleme, koji ubijaš proroke i kamenuješ one što su tebi poslani! Koliko li puta htjedoh skupiti djecu tvoju kao kvočka piliće pod krila i ne htjedoste!
35 Kale laba ennyumba yammwe erekeddwa awo. Era mbagamba nti temugenda kuddayo kundaba okutuusa ekiseera lwe kirituuka ne mugamba nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’”
Evo, napuštena vam kuća. A kažem vam, nećete me vidjeti dok ne dođe čas te reknete: “Blagoslovljen Onaj koji dolazi u ime Gospodnje!”

< Lukka 13 >