< Ebyabaleevi 1 >
1 Awo Mukama n’ayita Musa, n’ayogera naye ng’asinziira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. N’amulagira nti,
2 “Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omuntu yenna mu mmwe bw’aneeteesanga okuleeta ekiweebwayo eri Mukama, anaaleetanga ekiweebwayo kya nte ng’agiggya mu kiraalo kye, oba endiga oba embuzi ng’agiggya mu kisibo kye.’
3 “Ekiweebwayo bwe kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa nga kiva mu kiraalo ky’ente, anaawangayo seddume etaliiko kamogo. Anaagyereeteranga n’agiweerayo ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, kiryoke kikkirizibwe eri Mukama.
4 Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakwatanga omutwe gwakyo, era kinakkirizibwanga ku lulwe kiryoke kimutangiririre olw’ebibi bye.
5 Seddume eyo anaagittiranga mu maaso ga Mukama; era batabani ba Alooni, bakabona, banaddiranga omusaayi gwayo ne baguwaayo eri Mukama nga bagumansira ku kyoto okwebungulula enjuuyi zonna ez’ekyoto ekiri awo okumpi n’omulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
6 Awo ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakibaagangako eddiba, n’akitemaatemamu ebifi.
7 Batabani ba Alooni, kabona, banaakumanga omuliro mu kyoto, ne batindikira bulungi enku ku muliro ogwo.
8 Awo batabani ba Alooni, bakabona, banaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu babitaddeko; banaabissanga ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto.
9 Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabyokyanga ku kyoto ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
10 “Ekinaaleetebwanga okuba ekiweebwayo ekyokebwa bwe kinaavanga mu kisibo, oba ndiga oba mbuzi, omuntu oyo anaawangayo ennume etaliiko kamogo.
11 Anaagittiranga ku luuyi olwakkono olw’ekyoto mu maaso ga Mukama, era batabani ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto okukyebungulula.
12 Anaagitemaatemangamu ebifi; era kabona anaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu abitaddeko, n’abissa ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto.
13 Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabiwangayo, n’abyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
14 “Ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama bwe kinaabanga eky’ennyonyi, omuntu anaaleetanga ekiweebwayo eky’amayiba oba eky’enjiibwa ento.
15 Kabona anaaleetanga ennyonyi eyo ku kyoto n’aginyoola omutwe n’agukutulako, n’agwokya ku kyoto; omusaayi gwayo anaagukenenuliranga mu mbiriizi z’ekyoto.
16 Anaagiggyangamu ekisakiro kyayo n’ebikirimu, n’akisuula ku ludda olw’ebuvanjuba olw’ekyoto mu kifo awayiyibwa evvu.
17 Anaagikwatanga ebiwaawaatiro n’agiyuza; kyokka taagiryebulirengamu ddala. Anaagyokeranga ku nku ezikoledde omuliro mu kyoto; nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.