< Yobu 25 >

1 Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti, 2 “Okufuga kwa Katonda n’entiisa ya Katonda; ateekawo enkola entuufu mu bifo ebya waggulu mu ggulu. 3 Amaggye ge gasobola okubalibwa? Ani atayakirwa musana gwe? 4 Olwo omuntu ayinza atya okwelowooza nti mutuukirivu awali Katonda? Omuntu eyazaalibwa omukazi ayinza atya okuba omulongoofu? 5 Laba n’omwezi tegulina bye gwaka, n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge. 6 Ate omuntu obuntu oyo envunyu obuvunyu, omwana w’omuntu, oyo olusiriŋŋanyi, ayinza atya okwelowooza nti mulongoofu!”

< Yobu 25 >