< Yeremiya 20 >

1 Awo Pasukuli eyali kabona mutabani wa Immeri, eyali omukulu mu yeekaalu ya Mukama, yawulira nga Yeremiya awa obubaka buno, 2 n’alagira Yeremiya akubibwe. N’asibibwa mu nvuba eyali mu mulyango ogw’ekyengulu ogwa Benyamini ku yeekaalu ya Mukama. 3 Olunaku olwaddirira, nga Pasukuli amusumuludde mu nvuba, Yeremiya n’amugamba nti, “Mukama takyakuyita Pasukuli, naye Magolumissabibu. 4 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndikufuula eky’entiisa, ekikangabwa, eri ggwe n’eri mikwano gyo bonna; era balifa ekitala ky’abalabe baabwe, n’amaaso go galikiraba, era Yuda yonna ndigiwaayo mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, alibatwala e Babulooni oba okubattisa ekitala. 5 Era ndigabula obugagga bw’ekibuga kino bwonna obulimu, n’eby’omuwendo omungi era n’eby’obugagga byonna ebya bakabaka ba Yuda mu mukono gw’abalabe baabwe. Balibutwala babwetikke ng’omunyago mu Babulooni. 6 Era ggwe Pasukuli, era n’abo bonna ab’omu nnyumba yo balitwalibwa mu busibe, e Babulooni. Eyo gy’olifiira era oziikibwe, ggwe ne mikwano gyo bonna b’otegeezezza obunnabbi obw’obulimba.’” 7 Ayi Mukama, wannimba era n’ennimbibwa, wansinza amaanyi n’ompangula. Nvumibwa okuva ku makya okuzibya obudde, buli muntu ankudaalira. 8 Buli lwe njogera, ndeekaana ne nnangirira akatabanguko n’okuzikirira. Kale ekigambo kya Mukama kindeetera kuvumwa na kusekererwa buli lunaku. 9 Naye bwe ŋŋamba nti, “Sijja kumwogerako oba okweyongera okwogera mu linnya lye,” ekigambo kye mu mutima gwange kiri ng’omuliro ogwaka, ogukwekeddwa mu magumba gange. Nkooye okukizibiikiriza era ddala sisobola. 10 Mpulira bangi nga beegeya nti, “Akabi kali enjuuyi zonna. Mumuloope. Leka naffe tumuloope.” Mikwano gyange bonna banninda ngwe, nga bagamba nti, “Oboolyawo anaasobya, tumugweko tuwoolere eggwanga.” 11 Naye Mukama ali nange ng’omulwanyi ow’amaanyi ow’entiisa, kale abanjigganya kyebaliva bagwa ne bataddayo kuyimirira. Baakulemererwa era baswalire ddala n’okuswala kwabwe tekulyerabirwa emirembe gyonna. 12 Ayi Mukama Katonda ow’Eggye oyo agezesa abatuukirivu, alaba ebiri munda mu mitima era n’ebirowoozo, kale leka ndabe bw’obawoolererako eggwanga, kubanga ensonga zange nzitadde mu mikono gyo. 13 Muyimbire Mukama Katonda. Mumuwe ettendo. Kubanga awonyezza obulamu bw’omunaku mu mikono gy’abo abakozi b’ebibi. 14 Lukolimirwe olunaku kwe nazaalirwa! Olunaku mmange kwe yanzaalira luleme kuweebwa mukisa! 15 Akolimirwe eyaleetera kitange amawulire, agaamusanyusa ennyo, ng’agamba nti, “Omwana omulenzi akuzaaliddwa.” 16 Omusajja oyo abeere ng’ebibuga Mukama bye yamenyaamenya awatali kusaasira kwonna. Okukaaba kuwulirwe ku makya, ne nduulu z’abalwanyi mu ttuntu. 17 Yandinzitidde mu lubuto lwa mmange. Mmange yandibadde entaana yange, olubuto lwe ne luba lunene emirembe gyonna. 18 Lwaki nava mu lubuto okulaba emitawaana n’obuyinike era ennaku zange ne nzimala mu buswavu?

< Yeremiya 20 >