< Isaaya 35 >

1 Eddungu n’ensi enkalu birijaguza; Eddungu lirisanyuka ne limeramu ebintu. Ebimuli ebifaanana ng’ejjirikiti 2 birimeruka, birijaguza nnyo ne biwowogana n’essanyu mu ddoboozi ery’omwanguka. Ekitiibwa kya Lebanooni kirigiweebwa, ekitiibwa kya Kalumeeri ne Saloni; baliraba ekitiibwa kya Mukama, ekitiibwa kya Katonda waffe. 3 Muzzeemu amaanyi emikono eminafu, n’amaviivi agajugumira mugagumye. 4 Mugambe abo abalina omutima omuti nti, Mubeere n’amaanyi temutya: laba Katonda wammwe alijja; alibalwanirira, alage abalabe bammwe obusungu obw’Obwakatonda, era alibalokola. 5 Olwo amaaso g’abazibe galiraba, era n’amatu ga bakiggala galigguka; 6 omulema alibuuka ng’ennangaazi, n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu. Amazzi galifubutuka ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu. 7 N’omusenyu ogwokya gulifuuka ekidiba, n’ensi eyakala edda n’etiiriika ensulo ez’amazzi. Ebibe we byagalamiranga walimera omuddo, n’essaalu, n’ebitoogo. 8 Era eribaayo oluguudo olunene, n’ekkubo, eririyitibwa Ekkubo Ettukuvu. Abatali balongoofu tebaliriyitamu, liriba ly’abali abalongoofu, kubanga abasirusiru abatali balongoofu tebaliriyitamu. 9 Teribaayo mpologoma, so teririnnyayo nsolo yonna nkambwe; tezirirabikayo, naye abanunule balitambulira eyo. 10 N’abantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba, n’essanyu eritaggwaawo nga libajjudde. Balifuna essanyu lingi nnyo n’okujaguza, okunakuwala n’okusinda nga biggweereddewo ddala.

< Isaaya 35 >