< Isaaya 28 >

1 Zikusanze engule ey’amalala g’abatamiivu aba Efulayimu, zikusanze ekimuli ekiwotoka eky’obulungi bw’ekitiibwa kye, ekiri ku mutwe gw’ekiwonvu ekigimu, Zikusanze ekibuga ky’abo abatamiivu.
Woe to the crown of pride, to the drunkards of Ephraim, whose glorious beauty is a fading flower, which are on the head of the fat valleys of them that are overcome with wine!
2 Laba, Mukama wa maanyi mangi ddala, ng’embuyaga ey’omuzira n’embuyaga ezikiriza, ng’enkuba ey’amaanyi ereeta amataba, bwe ndisuula ekibuga ekyo n’amaanyi mangi.
Behold, the Lord has a mighty and strong one, which as a tempest of hail and a destroying storm, as a flood of mighty waters overflowing, shall cast down to the earth with the hand.
3 Engule ey’amalala ey’abatamiivu ba Efulayimu aligibetenta n’ebigere bye.
The crown of pride, the drunkards of Ephraim, shall be trodden under feet:
4 Ekimuli ekyo ekiwotoka eky’obulungi bw’ekitiibwa kye ekiri waggulu w’ekiwonvu ekigimu, kiriba ng’ettiini erisooka okwengera nga n’amakungula tegannatuuka, era omuntu bw’aliraba alinoga n’alirya.
And the glorious beauty, which is on the head of the fat valley, shall be a fading flower, and as the hasty fruit before the summer; which when he that looks upon it sees, while it is yet in his hand he eats it up.
5 Mu biro ebyo Mukama Katonda ow’Eggye aliba ngule ya kitiibwa, engule ennungi ey’abantu be abaasigalawo.
In that day shall the LORD of hosts be for a crown of glory, and for a diadem of beauty, unto the residue of his people,
6 Aliba n’omwoyo ogw’okusala ensonga mu bwenkanya oyo atuula n’asala emisango, Aliba nsibuko ya maanyi eri abo abawoza olutabaalo ku wankaaki.
And for a spirit of judgment to him that sits in judgment, and for strength to them that turn the battle to the gate.
7 Ne bano nabo batagala olw’omwenge, era bawabye olw’ekitamiiza; Bakabona ne bannabbi batagala olw’ekitamiiza, era bawabye olw’omwenge; bawabye olw’ekitamiiza, batagala ne bava mu kwolesebwa, era tebasalawo nsonga.
But they also have erred through wine, and through strong drink are out of the way; the priest and the prophet have erred through strong drink, they are swallowed up of wine, they are out of the way through strong drink; they go astray in vision, they stumble in judgment.
8 Weewaawo emmeeza zonna ziriko ebisesemye, tewakyali kifo kiyonjo.
For all tables are full of vomit and filthiness, so that there is no place clean.
9 “Ani gw’agezaako okuyigiriza? Ani gw’annyonnyola obubaka bwe? Abaana abaakalekayo okuyonka oba abo abaakaggibwa ku mabeere?
Whom shall he teach knowledge? and whom shall he make to understand doctrine? them that are weaned from the milk, and drawn from the breasts.
10 Kubanga kola okole, kola okole Ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro, Wano katono na wali katono.”
For precept must be upon precept, precept upon precept; line upon line, line upon line; here a little, and there a little:
11 Weewaawo, Katonda alyogera eri abantu abo n’emimwa emigenyi mu lulimi olugwira,
For with stammering lips and another tongue will he speak to this people.
12 abo be yagamba nti, Kino kye kifo eky’okuwummuliramu eri oyo akooye, era kye kifo eky’okuwerera naye ne bagaana okuwuliriza.
To whom he said, This is the rest wherewith all of you may cause the weary to rest; and this is the refreshing: yet they would not hear.
13 Noolwekyo ekigambo kya Mukama kyekiriva kibeera gye bali kola okole, kola okole, ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro, wano katono na wali katono, balyoke bagende bagwe kya bugazi, era balitegebwa, era ne batuukako ebisago ne bawambibwa.
But the word of the LORD was unto them precept upon precept, precept upon precept; line upon line, line upon line; here a little, and there a little; that they might go, and fall backward, and be broken, and snared, and taken.
14 Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama Katonda mmwe abantu abanyoomi, mmwe abafuga abantu ababeera mu Yerusaalemi ne mubanyooma.
Wherefore hear the word of the LORD, all of you scornful men, that rule this people which is in Jerusalem.
15 Weewaawo mwewaana nga bwe mugamba nti, “Twakola endagaano n’okufa, era twalagaana n’amagombe. Ekikangabwa eky’amaanyi ne bwe kijja, tekirina kye kiyinza kutukola, kubanga tufudde obulimba ekiddukiro kyaffe, era mu bukuusa mwe twekwese.” (Sheol h7585)
Because all of you have said, We have made a covenant with death, and with hell are we at agreement; when the overflowing scourge shall pass through, it shall not come unto us: for we have made lies our refuge, and under falsehood have we hid ourselves: (Sheol h7585)
16 Mukama Katonda Ayinzabyonna kyava agamba nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja, ejjinja eryagezesebwa, ery’oku nsonda, ery’omuwendo, okuba omusingi; oyo alyesiga taliterebuka.
Therefore thus says the Lord GOD, Behold, I lay in Zion for a foundation a stone, a tried stone, a precious corner stone, a sure foundation: he that believes shall not make haste.
17 Ndifuula obwenkanya okuba omuguwa ogupima, n’obutuukirivu okuba omuguwa ogutereeza, era omuzira gulyera ekiddukiro ekyobulimba, n’amazzi galyanjaala ku kifo eky’okwekwekamu.
Judgment also will I apply to the line, and righteousness to the plummet: and the hail shall sweep away the refuge of lies, and the waters shall overflow the hiding place.
18 N’endagaano gye walagaana n’okufa erijjulukuka, n’endagaano gye walagaana n’amagombe terinywera. Ekikangabwa eky’amaanyi bwe kirijja, kiribagwira. (Sheol h7585)
And your covenant with death shall be disannulled, and your agreement with hell shall not stand; when the overflowing scourge shall pass through, then all of you shall be trodden down by it. (Sheol h7585)
19 Weewaawo buli lwe kinaayitanga, kinaabagwiranga buli lukya emisana n’ekiro.” Era okutegeera obubaka buno kirireeta ntiisa njereere.
From the time that it goes forth it shall take you: for morning by morning shall it pass over, by day and by night: and it shall be a vexation only to understand the report.
20 Weewaawo ekitanda kimpi okwegololerako, ne bulangiti nnyimpi okwebikka.
For the bed is shorter than that a man can stretch himself on it: and the covering narrower than that he can wrap himself in it.
21 Weewaawo Mukama aligolokoka nga bwe yagolokoka ku Lusozi Perazimu, era alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu Kiwonvu eky’e Gibyoni, alyoke akole omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa, atuukirize omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa.
For the LORD shall rise up as in mount Perazim, he shall be angry as in the valley of Gibeon, that he may do his work, his strange work; and bring to pass his act, his strange act.
22 Noolwekyo mulekeraawo okunyooma, enjegere zammwe zireme kweyongera kubazitoowerera. Nawulira okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye ng’awa ekiragiro ekizikiriza ensi yonna.
Now therefore be all of you not mockers, lest your bands be made strong: for I have heard from the Lord GOD of hosts a consumption, even determined upon the whole earth.
23 Muwulirize, era muwulire eddoboozi lyange; Musseeyo omwoyo, muwulire kye ŋŋamba.
Give all of you ear, and hear my voice; hearken, and hear my speech.
24 Omulimi bw’alima nga yeetegekera okusimba, alima lutata? Alima bw’ayimirira n’atema amavuunike mu ttaka?
Does the plowman plow all day to sow? does he open and break the clods of his ground?
25 Bw’amala okulyanjaala, tasigamu mpinnamuti, n’asaasaanya kumino? Tasiga ŋŋaano mu kifo kyayo, ne sayiri mu kibanja kyayo, n’omukyere mu nnimiro yaagwo?
When he has made plain the face thereof, does he not cast abroad the fitches, and scatter the cummin, and cast in the principal wheat and the appointed barley and the spelt in their place?
26 Katonda we amuwa ebiragiro, n’amuyigiriza ekkubo etuufu.
For his God does instruct him to discretion, and does teach him.
27 Empinnamuti teziwuulibwa na luso, newaakubadde okunyiga kumino ne nnamuziga w’eggaali. Empinnamuti zikubibwa na muggo ne kumino n’ekubibwa n’oluga.
For the fitches are not threshed with a threshing instrument, neither is a cart wheel turned about upon the cummin; but the fitches are beaten out with a staff, and the cummin with a rod.
28 Empeke eteekwa okuseebwa okuvaamu omugaati, So n’omuntu tagiwuula butamala. Newaakubadde ng’agitambulizaako nnamuziga w’eggaali lye eriwuula, Embalaasi ze si zeezigisa.
Bread corn is bruised; because he will not ever be threshing it, nor break it with the wheel of his cart, nor bruise it with his horsemen.
29 Bino byonna nabyo biva eri Mukama Katonda ow’Eggye, ow’ekitalo mu kuteesa ebigambo, asinga amagezi.
This also comes forth from the LORD of hosts, which is wonderful in counsel, and excellent in working.

< Isaaya 28 >