< Isaaya 26 >

1 Mu biro ebyo oluyimba luno luliyimbibwa mu nsi ya Yuda. Tulina ekibuga eky’amaanyi; Katonda assaawo obulokozi okuba bbugwe waakyo n’ekigo kyakyo. 2 Ggulawo wankaaki, eggwanga ettukuvu liyingire, eggwanga erikuuma okukkiriza. 3 Mukama alikuuma mirembe oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe. 4 Weesigenga Mukama ennaku zonna, kubanga emirembe giri waggulu mu Mukama, Mukama Katonda oyo atoowaza. 5 Mukama lwe lwazi olutaggwaawo, akkakkanya ekibuga eky’amalala, akissa wansi ku ttaka, n’akisuula mu nfuufu. 6 Kirinnyirirwa ebigere by’abanyigirizibwa, n’ebisinde by’abaavu. 7 Ekkubo ly’abatuukirivu ttereevu; Ggwe atuukiridde, olongoosa olugendo lw’omutuukirivu. 8 Weewaawo Mukama Katonda tukulindirira nga tutambulira mu mateeka go, era erinnya lyo n’okumanyibwa kwo kwe kwegomba kw’emitima gyaffe. 9 Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro, omwoyo gwange gukunoonyeza ddala. Bw’osalira ensi omusango, abantu b’ensi bayiga obutuukirivu. 10 Omukozi w’ebibi ne bw’akolerwa ebyekisa, tayiga butuukirivu. Ne bw’abeera mu nsi ey’abatuukiridde, yeeyongera kukola bibi, era talaba kitiibwa kya Mukama Katonda. 11 Mukama Katonda omukono gwo guyimusibbwa waggulu, naye tebagulaba. Ka balabe obunyiikivu bwo eri abantu bo baswazibwe, omuliro ogwaterekerwa abalabe bo ka gubamalewo. 12 Mukama Katonda, otuteekerateekera emirembe, n’ebyo byonna bye tukoze, ggw’obitukoledde. 13 Ayi Mukama Katonda waffe, abafuzi abalala batufuze nga wooli naye erinnya lyo lyokka lye tussaamu ekitiibwa. 14 Baafa, tebakyali balamu; egyo emyoyo egyagenda tegikyagolokoka. Wababonereza n’obazikiriza, wabasaanyizaawo ddala bonna, ne watabaawo akyabajjukira. 15 Ogaziyizza eggwanga, Ayi Mukama Katonda ogaziyizza eggwanga. Weefunidde ekitiibwa, era ogaziyizza ensalo zonna ez’ensi. 16 Mukama Katonda, bajja gy’oli mu nnaku yaabwe, bwe wabakangavvula, tebaasobola na kukusaba mu kaama. 17 Ng’omukyala ow’olubuto anaatera okuzaala, bw’alumwa n’akaaba mu bulumi, bwe tutyo bwe twali mu maaso go, Ayi Mukama Katonda. 18 Twali lubuto, twalumwa, naye twazaala mpewo Tetwaleeta bulokozi ku nsi, tetwazaala bantu ba nsi. 19 Naye abafiira mu ggwe balirama, emibiri gyabwe girizuukira. Mugolokoke, muleekaane olw’essanyu. Ssuulwe wo ali ng’omusulo ogw’oku makya, ensi erizaala abafudde. 20 Mugende abantu bange muyingire mu bisenge byammwe muggalewo enzigi zammwe. Mwekweke okumala akabanga katono, okutuusa ekiruyi kye lwe kirimuggwaako. 21 Weewaawo laba Mukama Katonda ava mu kifo kye gy’abeera okubonereza abantu b’ensi olw’ebibi byabwe. Ensi erikwekula omusaayi ogwagiyiikako, era teriddayo nate kukweka abattibwa.

< Isaaya 26 >