< Isaaya 12 >

1 Ku lunaku olwo oligamba nti, “Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda; newaakubadde nga wansunguwalira, obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi. 2 Laba Katonda bwe bulokozi bwange; nzija kumwesiga era siritya; kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, era afuuse obulokozi bwange.” 3 Munaasenanga n’essanyu amazzi okuva mu nzizi ez’obulokozi. 4 Era ku lunaku olwo mulyogera nti, “Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe. 5 Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo; muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna. 6 Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni, kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”

< Isaaya 12 >