< Koseya 11 >

1 “Isirayiri bwe yali omwana omuto, namwagala, era namuyita okuva mu Misiri. 2 Naye buli lwe nayongeranga okuyita Isirayiri, nabo gye beeyongeranga okusemberayo ne bawaayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza ebifaananyi ebyole obubaane. 3 Nze nayigiriza Efulayimu okutambula, nga mbakwata ku mukono; naye tebategeera nga nze nabawonya. 4 Nabakulembera n’emiguwa egy’okusaasira okw’obuntu, n’ebisiba eby’okwagala. Naggya ekikoligo mu bulago bwabwe ne neetoowaza ne mbaliisa. 5 “Tebaliddayo mu nsi ya Misiri, era Obwasuli tebulibafuga kubanga baagaana okwenenya? 6 Ekitala kirimyansiza mu bibuga byabwe ne kizikiriza ebisiba ebya wankaaki waabwe, ne kikomya enteekateeka zaabwe. 7 Abantu bange bamaliridde okunvaako. Ne bwe banaakoowoola oyo Ali Waggulu Ennyo, taabagulumize. 8 “Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu? Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri? Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma? Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu? Omutima gwange gwekyusiza munda yange, Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi. 9 Siikole ng’obusungu bwange obungi bwe buli, so siridda kuzikiriza Efulayimu; kubanga siri muntu wabula ndi Katonda, Omutukuvu wakati mu mmwe: sirijja na busungu. 10 Baligoberera Mukama; era aliwuluguma ng’empologoma. Bw’aliwuluguma, abaana be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba. 11 Balijja nga bakankana ng’ebinyonyi ebiva e Misiri, era ng’enjiibwa eziva mu Bwasuli. Ndibafuula abatuuze mu maka gaabwe,” bw’ayogera Mukama. 12 Efulayimu aneebunguluzza obulimba, n’ennyumba ya Isirayiri eneebunguluzza obukuusa, ne Yuda ajeemedde Katonda, ajeemedde omwesigwa Omutukuvu.

< Koseya 11 >