< Amosi 9 >

1 Bwe ntyo nate ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto, n’ayogera nti, “Mukube emitwe gy’empagi bya yeekaalu n’amaanyi mangi, emifuubeeto gikankane. Bisesebbuke bikube emitwe gy’abantu bonna, n’abo abaliba bawonyeewo ndibattisa ekitala. Tewaliba n’omu awona. 2 Ne bwe balisima ne baddukira emagombe, omukono gwange gulibaggyayo. Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu ndibawanulayo. (Sheol h7585) 3 Wadde balyekweka ku lusozi Kalumeeri, ndibanoonyaayo ne mbaggyayo. Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bw’ennyanja ndiragira ogusota ne gubalumirayo. 4 Ne bwe balitwalibwa abalabe baabwe mu buwaŋŋanguse, era nayo ndiragira ekitala ne kibattirayo. Ndibasimba amaaso ne batuukibwako bibi so si birungi.” 5 Era Mukama, Mukama ow’Eggye, akwata ku nsi n’esaanuuka, abantu baayo bonna abagibeeramu ne bakungubaga, ensi yonna n’etumbiira nga Kiyira ate n’ekka ng’amazzi g’omugga gw’e Misiri; 6 oyo eyazimba olubiri lwe olulungi ennyo mu ggulu, omusingi gwalwo ne gubeera ku nsi, ayita amazzi g’ennyanja, n’agayiwa wansi ku lukalu, Mukama lye linnya lye. 7 Mukama ayongera n’agamba nti, “Mmwe abaana ba Isirayiri temuli ng’Abakuusi gye ndi? Ssabaggya mu nsi y’e Misiri nga bwe naggya Abafirisuuti e Katufoli, n’Abasuuli e Kiri?” 8 “Ddala ddala amaaso ga Mukama Katonda, gatunuulidde nkaliriza obwakabaka obwonoonyi. Ndibuzikiriza ne mbusaasaanya okuva ku nsi. Kyokka sirizikiririza ddala ennyumba ya Yakobo okugimalawo,” bw’ayogera Mukama. 9 “Kubanga ndiwa ekiragiro, ennyumba ya Isirayiri erinyeenyezebwa mu mawanga gonna, ng’emmere ey’empeke bwe kuŋŋutibwa mu kakuŋŋunta era tewaliba kayinja akaligwa wansi. 10 Aboonoonyi bonna mu bantu bange, balifa kitala, abo bonna aboogera nti, ‘Akabi tekalitutuukako.’” 11 “Mu biro ebyo ndizzaawo ennyumba ya Dawudi eyagwa era ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa, ne nzizaawo ebyali amatongo, ne biba nga bwe byabeeranga, 12 balyoke batwale ekitundu kya Edomu ekyasigalawo n’amawanga gonna ge nayita okuba abantu bange,” bw’ayogera Mukama alikola ebintu ebyo byonna. 13 “Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “akungula lw’alisinga asiga, n’asiga ensigo lw’alisinga atunda emizabbibu. Wayini omuggya alitonnya okuva mu nsozi, n’akulukuta okuva mu busozi. 14 Ndikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse, ne bazimba nate ebibuga ebyamenyebwa, babibeeremu. Balisimba ennimiro zaabwe ez’emizabbibu ne banywa wayini avaamu, era balisimba ennimiro balye ebibala byamu. 15 Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe, era tebaliggibwa nate mu nsi gye nabawa,” bw’ayogera Mukama Katonda wammwe.

< Amosi 9 >