< Amosi 3 >

1 Muwulire ekigambo kino Mukama ky’aboogerako mmwe abaana ba Isirayiri, ennyumba yonna gye naggya mu Misiri. 2 “Mu bantu bonna abali ku nsi, mmwe mwekka be nalonda. Kyendiva mbabonereza olw’ebibi byammwe byonna.” 3 Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu wabula nga bakkiriziganyizza? 4 Empologoma ewulugumira mu kisaka nga terina muyiggo? Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayo nga teriiko ky’ekutte? 5 Akanyonyi kayinza okugwa mu mutego nga tewali kikasikirizza? Omutego gumasuka nga teguliiko kye gukwasizza? 6 Akagombe kavugira mu kibuga abantu ne batatya? Akabenje kagwa mu kibuga nga Mukama si y’akaleese? 7 Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna nga tasoose kukibikkulira baweereza be, bannabbi. 8 Empologoma ewulugumye, ani ataatye? Mukama Katonda ayogedde ani ataawe bubaka bwe? 9 Langirira eri ebigo by’e Asudodi n’eri ebigo by’e Misiri nti, “Mujje mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliya mulabe akajagalalo akanene akali eyo n’abantu be nga bwe bajoogebwa.” 10 Mukama agamba nti, “Abantu abajjuzza ebigo byabwe n’ebintu ebinyage, tebamanyi kukola kituufu.” 11 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Omulabe alirumba ensi, n’amenyaamenya ebigo byo eby’amaanyi era n’abinyagulula.” 12 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ng’omusumba bw’agezaako okutaasa endiga ye okuva mu kamwa k’empologoma n’asikayo amagulu abiri obubiri n’ekitundu ky’okutu, bwe batyo Abayisirayiri bwe balinunulibwa, abo abatuula mu Samaliya ku nkomerero y’ebitanda byabwe ne ku bitanda byabwe mu Ddamasiko. 13 “Muwulirize kino era mulumirize enju ya Yakobo yonna,” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna. 14 “Ku lunaku lwe lumu lwe ndibonereza Isirayiri olw’ebibi bye, ndisaanyaawo ebyoto by’e Beseri, n’amayembe g’ekyoto galisalibwako ne gagwa wansi. 15 Era ndisaanyaawo ennyumba ebeerwamu mu biseera eby’obutiti, awamu n’ennyumba ebeerwamu mu biseera ey’ebbugumu; era ndimenyaamenya n’ennyumba ezayolebwa n’amasanga, ne nsanyaawo n’embiri,” bw’ayogera Mukama.

< Amosi 3 >