< 1 Ebyomumirembe 7 >

1 Abaana ba Isakaali baali bana: Tola, ne Puwa, ne Yasubu, ne Simuloni.
Issachar’s four sons were Tola, Puah, Jashub, and Shimron.
2 Batabani ba Tola baali Uzzi, Lefaya, Yeryeri, Yamayi, Ibusamu ne Semweri, era be baali abakulu b’enda zaabwe. Ku mulembe gwa Dawudi, bazzukulu ba Tola baali abasajja abalwanyi nga bawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lukaaga.
Tola’s sons were Uzzi, Rephaiah, Jeriel, Jahmai, Ibsam, and Samuel (OR, Shemuel). They were all leaders of the clans [descended from] them. In the record of Tola’s descendants were the names of 22,600 men who served in the army during the time that David was the king [of Israel].
3 Uzzi n’azaala Izulakiya. Izulakiya n’azaala Mikayiri, ne Obadiya, ne Yoweeri ne Issiya, era bonna baali bakulu.
Uzzi’s son was Izrahiah. Izrahiah’s five sons were Michael, Obadiah, Joel, and Isshiah. Izrahiah and his sons were all leaders of their clans.
4 Okusinziira ku nda yaabwe, baali basajja b’amaanyi era nga balwanyi ba ntalo, nga balina abakyala n’abaana bangi, nga bawera abasajja emitwalo esatu mu kakaaga.
In the record of Izrahiah’s descendants were the names of 36,000 men who served in the army because they had many wives and children.
5 Baganda baabwe bonna awamu abaali ab’ekika kya Isakaali baali abasajja abalwanyi emitwalo munaana mu kasanvu bonna awamu.
In the records of the clans descended from Issachar were the names of 87,000 men who served in the army.
6 Benyamini yalina abatabani basatu, Bera, ne Bekeri ne Yediyayeri.
[Some of the] sons of Benjamin were Bela, Beker, and Jediael.
7 Batabani ba Bera baali Ezuboni, ne Uzzi, ne Wuziyeeri, ne Yerimosi ne Iri, be baana bataano, ate nga bonna bakulu b’enda zaabwe. Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu amakumi asatu mu bana.
Bela’s five sons were Ezbon, Uzzi, Uzziel, Jerimoth, and Iri. They were all leaders of clans. In the records of the clans descended from Bela there were names of 22,034 men who served in the army.
8 Batabani ba Bekeri baali Zemira, ne Yowaasi, ne Eryeza, ne Eriwenayi, ne Omuli, ne Yeremosi, ne Abiya, ne Anasosi ne Alemesi. Bano be baali abaana ba Bekeri ate nga bonna bakulu b’enda zaabwe.
Beker’s sons were Zemirah, Joash, Eliezer, Elioenai, Omri, Jeremoth, Abijah, Anathoth, and Alemeth.
9 Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu ebikumi bibiri mu bibiri.
In the records of the clans descended from Beker were the names of 20,200 men and leaders of the clans who served in the army.
10 Mutabani wa Yediyayeri, yali Birukani, ate batabani ba Birukani nga be ba Yewusi, ne Benyamini, ne Ekudi, ne Kenaana, ne Zesani, ne Talusiisi ne Akisakali.
Jediael’s son was Bilhan. Bilhan’s sons were Jeush, Benjamin, Ehud, Kenaanah, Zethan, Tarshish, and Ahishahar.
11 Bano bonna baali bazzukulu ba Yediyayeri ate nga be bakulu b’enda zaabwe. Era baali abasajja abalwanyi omutwalo gumu mu kasanvu mu ebikumi bibiri.
They were all leaders of clans descended from them. There were 17,200 of them who served in the army.
12 Abasuppimu n’Abakupimu baali bazzukulu ba Iri, ate ng’Abakusimu bazzukulu ba Akeri.
Shuppim and Huppim were descendants of Ir. [One of] the descendants of Aher was Hushim.
13 Batabani ba Nafutaali baali Yaziyeri, ne Guni, ne Yezeri ne Sallumu, era bano be bazzukulu ba Biruka.
Naphtali’s sons were Jahziel, Guni, Jezer, and Shillem. They were all descendants of [Jacob’s slave wife] Bilhah.
14 Bano be baali bazzukulu ba Manase: Asuliyeri ne Makiri mukyala we Omwalamu. Be yamuzaalira. Makiri n’azaala Gireyaadi.
[This is a list of] Manasseh’s descendants. Manasseh had a slave wife who was from Syria. She was the mother of Asriel and Makir. Makir was the father of Gilead.
15 Makiri n’awasa okuva mu Bakupimu n’Abasuppimu, n’erinnya lya mwannyina nga ye Maaka. Omuzzukulu omulala yali Zerofekadi, era ng’alina baana ba buwala bokka.
Makir [had two wives]. They were from the clans of Huppim and Shuppim. One of Makir’s wives was named Maacah. Another descendant [of Makir] was Zelophehad. Zelophehad [had no sons; he] had only daughters.
16 Maaka mukyala wa Makiri n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Peresi. Muganda we ye yali Seresi, nga ne batabani ba Seresi be ba Ulamu ne Lekemu.
Makir’s wife Maacah gave birth to two sons whom she named Peresh and Sheresh. Sheresh’s sons were Ulam and Rakem.
17 Mutabani wa Ulamu yali Bedani, era bano nga be batabani ba Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase.
Ulam’s son was Bedan. All those [men were considered to be] descendants of Gilead, who was the son of Makir and grandson of Manasseh.
18 Mwannyina Kammolekisi n’azaala Isukondi, ne Abiyezeeri ne Makula.
Makir’s sister name was Hammoleketh who was the mother of Ishdod, Abiezer, and Mahlah.
19 Batabani ba Semida baali Akyani, ne Sekemu, ne Liki ne Aniyamu.
[One son of Gilead was] Shemida, whose sons were Ahian, Shechem, Likhi, and Aniam.
20 Mutabani wa Efulayimu yali Susera, mutabani wa Susera nga ye Beredi, mutabani wa Beredi nga ye Takasi, mutabani wa Takasi nga ye Ereyadda, mutabani wa Ereyadda nga ye Takasi,
[This is a list of] the descendants of Ephraim. One son of Ephraim’s was Shuthelah. Shuthelah’s son was Bered. Bered’s son was Tahath. Tahath’s son was Eleadah. Eleadah’s son was [also named] Tahath.
21 mutabani wa Takasi nga ye Zabadi, ate mutabani wa Zabadi nga ye Susera. Efulayimu yalina batabani be abalala babiri, nga be ba Ezeri ne Ereyaddi abattibwa mu nsi ya Gusi nga bagenze okubba (okunyaga) ente.
Tahath’s son was Zabad. Zabad’s son was Shuthelah. [Ephraim’s other sons, ] Ezer and Elead, went to Gath [city] to steal some cows and sheep. But they were both killed by some of the men from that city.
22 Efulayimu n’abakungubagira okumala ennaku nnyingi, era baganda be ne bajja okumukungubagirako.
Their father Ephraim cried/mourned for them for many days, and his family came to comfort him.
23 Awo Efulayimu n’amanya mukyala we, mukyala we n’azaala omwana owoobulenzi omulala, n’amutuuma Beriya kubanga ennyumba ye yatuukibwako emitawaana.
Then he and his wife had sex [EUP] [again], and she became pregnant and gave birth to a son. Ephraim named him Beriah [which resembles the word ‘trouble’, ] because of the trouble that his family had experienced.
24 Ne muwala we yali Sera, era oyo yazimba Besukoloni ekya eky’emmanga n’eky’engulu, ne Uzzemmuseera.
Ephraim’s daughter was Sheerah. Her workers built [three towns]: Lower Beth-Horon, Upper Beth-Horon, and Uzzen-Sheerah.
25 Efulayimu yalinayo n’omutabani omulala erinnya lye Leefa, nga ye kitaawe wa Lesefu, Lesefu n’azaala Teera, Teera n’azaala Takani,
[Another] son of Ephraim was Rephah. Rephah’s son was Resheph. Resheph’s son was Telah. Telah’s son was Tahan.
26 Takani n’azaala Ladani, Ladani n’azaala Ammikudi, Ladani n’azaala Erisaama,
Tahan’s son was Ladan. Ladan’s son was Ammihud. Ammihud’s son was Elishama.
27 Erisaama n’azaala Nuuni, Nuuni n’azaala Yoswa.
Elishama’s son was Nun. Nun’s son was Joshua, [the man who led the Israelis after Moses died].
28 Ettaka lyabwe n’ebifo we baasenga byali Beseri n’obubuga obutono obukyetoolodde, ebuvanjuba w’e Naalani, ebugwanjuba w’e Gezeri, n’obubuga bwakyo, n’e Sekemu n’obubuga bwakyo, okutuukira ddala ku Azza n’obubuga obukyetoolodde.
[This is a list of] the cities and areas where the descendants of Ephraim lived: Bethel and the nearby villages; Naaran to the east; Gezer to the west and the nearby villages; and Shechem and the nearby villages. Those villages extended [north] as far as Ayyah and the nearby villages.
29 Bazzukulu ba Yusufu, Abamanase, mutabani wa Isirayiri babeeranga Besuseyani, n’e Taanaki, n’e Megiddo, n’e Doli n’obubuga obwali bubiriranye.
Along the border of the area where the descendants of Manasseh lived were these towns: Beth-Shan, Taanach, Megiddo, and Dor, and the nearby villages. The people who lived in all those places were descendants of Jacob’s son Joseph.
30 Abaana ba Aseri baali Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya, ne Seera mwannyinaabwe.
Asher’s sons were Imnah, Ishvah, Ishvi, and Beriah. Their sister was Serah.
31 Batabani ba Beriya baali Keberi ne Malukiyeeri, ne Malukiyeeri nga ye kitaawe wa Biruzayisi.
Beriah’s sons were Heber and Malkiel. Malkiel was the father of Birzaith
32 Keberi n’azaala Yafuleti, ne Somera, ne Kosamu ne mwannyinaabwe Suwa.
Heber was the father of Japhlet, Shomer, and Hotham. Their sister was Shua.
33 Batabani ba Yafuleti baali Pasaki, ne Bimukali, ne Asuvasi.
Japhlet’s sons were Pasach, Bimhal, and Ashvath.
34 Batabani ba Semeri baali Aki, ne Loga, ne Yekubba ne Alamu.
Japhlet’s [younger] brother was Shomer. Shomer’s sons were Rohgah, Hubbah, and Aram.
35 Batabani ba muganda we Keremu baali Zofa, ne Imuna, ne Seresi ne Amali.
Shomer’s [younger] brother was Hotham (OR, Helem). Hotham’s sons were Zophah, Imna, Shelesh, and Amal.
36 Batabani ba Zofa baali Suwa, ne Kaluneferi, ne Suwali, ne Beri, ne Imula,
Zophah’s sons were Suah, Harnepher, Shual, Beri, Imrah,
37 ne Bezeri, ne Kodi, ne Samma, ne Sirusa, ne Isulani ne Beera.
Bezer, Hod, Shamma, Shilshah, Ithran [whose other name was Jether], and Beera.
38 Batabani ba Yeseri baali Yefune, ne Pisupa ne Ala.
Jether’s sons were Jephunneh, Pispah, and Ara.
39 Batabani ba Ulla baali Ala, ne Kanieri ne Liziya.
[Another descendant of Asher was] Ulla, whose sons were Arah, Hanniel, and Rizia.
40 Bano bonna baali bazzukulu ba Aseri, abamu nga bakulu ba nda zaabwe abalala nga basajja baakitiibwa, n’abalala nga balwanyi abazira, n’abalala nga baami bakulu ddala mu bitiibwa byabwe. Abasajja abalwanyi bonna awamu bawera emitwalo ebiri mu kakaaga.
All those men were descendants of Asher, and they were all leaders of their clans. They were brave warriors and excellent leaders. In the record of the clans that are descended from Asher are [the names of] 26,000 men who served in the army.

< 1 Ebyomumirembe 7 >